TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaasenga ku ttaka ly’ebibira e Ssembabule basattira

Abaasenga ku ttaka ly’ebibira e Ssembabule basattira

By Musasi wa Bukedde

Added 17th February 2019

Abaasenga ku ttaka ly’ebibira e Ssembabule basattira

Hop1 703x422

Minisita Namuganza nga bamwaniriza e Ssembabule.

Abantu abasoba mu 60,000 abali ku byalo 52 mu ggombolola y’e Lwebitakuli mu disitulikiti y’e Ssembabule basobeddwa oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibira ekya National Forestry Authority(NFA), okubalagira okwamuka ettaka kwe babadde okuva mu 1930, nga bagamba nti baalisengako mu bukyamu.

Newankubadde aba NFA, bagamba nti ettaka eriweza mayiro 59 lyabwe, kyokka Muhammed Kasule ne Lutogoza nabo bagamba nti balirinako obwannannyini era balina n’ebyapa era nga nabo bazze balabula abaliriko okulyamuka mu bwangu.

Embeera eno yawalirizza omubaka wa Mawogola South atwala ekitundu kino, Joseph Ssekabiito okuyita minisita omubeezi ow’ensonga z’ettaka Persis Namuganza asisinkane abatuuze bamubuulire ebizibu bye bayitamu.

Namuganza yeesitudde ng’ali ne minisita ow’obutonde bw’ensi Mary Gorreth Kitutu ne basisinkana abatuuze mu lukiiko olwatudde ku ssomero lya Misenyi Primary School nga nalyo liri mu ttaka lino.

Abatuuze abaabadde basuubira minisita okubakakasa nga bwe bajja kusigala ku ttaka lino, bwe yatuuse okwogera yabategeezezza ng’ettaka bwe liri ery’ebibira nga lyalekebwawo n’ekigendererwa eky’okukuuma obutonde bw’ensi.

Yabategeezezza nga bwe bagenda okusindika abakugu okuva mu Minisitule beetegereze abantu abali ku ttaka lino era abanaasangibwa nga baasenga munda mu bibira bajja kusengulwa babafunire ettaka eddala mu Ssembabule n’abagumya nti okuva bwe bali abangi abali ku ttaka lino bonna si baakusengulwa.

Ebyayogeddwa minisita byatabudde abatuuze kubanga tebaategedde bagenda kusengulwa n’abajja okusigala ku ttaka lino Steven Ssenyonjo, ssentebe w’eggombolola eno yategeezezza minisita nti abatuuze boolekedde enjala n’obwavu kubanga batya okukolera ku ttaka lino olw’obutamanya kiseera kye bagenda kumala ku ttaka lino. Omubaka wa Pulezidenti Mathias Kintu Musoke yagambye nti ettaka lingi liriko ebyapa ebisoba mu kimu e Ssembabule.

Yennyamidde olw’ebifo okuli entobazzi n’ettaka ly’ebibira okuba nga lyagabibwako ebyapa ate nga vvulugu ono akolebwa ofiisi za Gavumenti n’asaba minisita okulwanyisa ekizibu kino kubanga kye kivuddeko entalo eziri mu kitundu kyabwe.

Ssekabiito yasabye minisita okukkiriza abantu basigale ku ttaka lino kubanga Gavumenti ye yabatongoza n’ebazimbirako amasomero, amalwaliro, ddaamu n’ebintu ebirala ng’okubeefuulira ne babagoba tekiba kya bwenkanya.

Yayongeddeko nti amateeka gakolebwa bantu nga singa gasangibwa nga ganyigiriza gasaana okukyusibwa okugeza ettaka eryatongozebwa okubeera eryebibira nga mu kiseera kino liriko abantu lisaanye okyussibwa Gavumenti efune ebifo ebirala awatali bantu ebitongoze efube okulaba ng’abantu tebasengamu. Minisita Kitutu yagambye nti ‘Forest

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte