TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi

By Joseph Makumbi

Added 17th February 2019

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi

Mpa2 703x422

AMASOMERO mu Kampala gali mu keetalo kw’ani anaawangula engule y’essomero erisinze okukyusa embeera z’abawala abato abaweddemu essuubi ezaatuumiddwa ‘Save the Innocence Challenge Grand Finale’.

Empaka ezigenda okufundikirwa, zaatandika mwaka guwedde abayizi okuva mu masomero mukaaga mu Kampala okwali Mt. St. Mary’s Namagunga, St. Mary’s College Lugazi, Home Land College Lugazi, Trinity College Nabbingo. Buddo SS ne Princess Diana High School bwebaasindikibwa e Kamuli okukyusa obulamu bw’abawala abaweddemu essuubi.

Abayizi bano, baalina okunoonya omuwala eyazaala nga tanaweza myaka 18 n’ava mu ssomero bamuyigirize engeri y’okwebezaawo mu bulamu n’engeri gyasobola okudda mu ssomero wadde yazaala.

Entikko y’empaka zino, egenda kubeera ku Theatre Labonita nga February 23, 2019 ku mukolo ogugenda okubeera ku kkapeti emyufu ng’abayizi bonna abeetaba mu mpaka zino n’amasomero gaabwe galaga byegaayitamu okuzuula abawala abaweddemu essuubi.

Empaka zino zaatandikibwawo Amabasada w’abawala n’abakyala mu Uganda Esther Nakajjigo era zizze zibeerawo ng’abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo bagenda mu disitulikiti ezisinga okubaamu abawala abaweddemu essuubi.

Wilson Jaga omukwanaganya w’empaka zino, yalambuzza abayizi Theatre Labonita awagenda okubeera entikko z’empaka era naabalambululirra byebalina okukola n’olunaku engeri gyebanaalutambuzaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi