TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 18th February 2019

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Mot2 703x422

Kyeyune ku mmotoka ze ez’ebbeeyi okuwandiikiddwa Cheune.

POLIISI n’ekitongole ekiketta mu ggwanga ekya ISO, byongedde amaanyi ku bagagga abagambibwa okuba abafere abanyaga obutitimbe bwa ssente nga basinga kwekweka mu kutunda zaabu (gold).

Muganda w’omugenzi Ivan Ssemwanga ayitibwa Edward Kyeyune amanyiddwa ennyo nga Edy Cheune naye akwatiddwa mu bya ddiiru ya bukadde bwa ddoola buna n’ekitundu (doola 4,500,000) ze baanyaga ku mukazi omugagga w’e Dubai kyokka nga nzaalwa y’e Russia atunda zaabu.

Baamukutte waakayita ennaku ntono nga poliisi yaakakwata Vivian Angella Chebet Mbuga muk’omugagga Sulaiman Kabangala Mbuga ku misango gy’okutambuza ssente mu bumenyi bw’amateeka ze baafera ku Muzungu enzaalwa y’e Sweden, Stein Heinson. Mbuga naye yakwatibwa ku by’okufera Abazungu era yaggyiddwa mu kkomera e Dubai n’atwalibwa e Bulaaya.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yakakasizza okukwatibwa kwa Kyeyune n’agamba nti bamukutte luvannyuma lw’okutiisatiisa nnamwandu wa AK47 gwe yakola naye ddiiru.

AK47 muganda wa Jose Chameleone yafa mu 2015. Ensonda mu ISO zaategeezezza nti Kyeyune y’omu ku bavubuka abaludde mu mulimu gw’okutunda zaabu. Kyeyune y’omu ku Bannayuganda abalina ssente.

Abeera South Afrika kyokka abeera nnyo mu Uganda. Avuga emmotoka za bbeeyi era ennamba zaazo ziwandiikibwa mu linnya lye erya “Cheune”. Muka AK47, Nnaalongo Margie Kiweesi ne Nasser Nduhukire amanyiddwa ennyo nga Don Nasser be baagenze mu ISO ne baloopa Kyeyune nga bamuvunaana okutiisatiisa okuwamba abalongo ba Kiweesi ababeera mu Amerika.

Don Nasser naye yakwatibwa ku by’okufera Omumerika Jonny Hill ddoola 700,000. Bano balumiriza nti, balina obutambi bwa Kyeyune mu ddoboozi lye ng’awera okutuusa obulabe ku baana ba Kiweesi be yazaala mu AK47.

LUNO LUTALO LWA BYANFUNA- KYEYUNE

Mikwano gya Kyeyune gyategeezezza nti luno lutalo lwa byanfuna wakati wa Nnaalongo Kiweesi, Don Nasser ne Kyeyune. Don Nasser okukwatibwa mu November w’omwaka oguwedde, kigambibwa nti byalimu omukono gwa Kyeyune era bwe yayimbulwa ku kakalu ka kkooti okuva mu kkomera e Kigo yatandikirawo olutalo ku Kyeyune. Bagamba nti Kyeyune yali mukwano gwa Nnaalongo Kiweesi era Naalongo okukomawo mu Uganda, Kyeyune ye yamugulira tikiti y’ennyonyi n’okumusasulira wooteeri mwe yasulanga e Buziga n’e Munyonyo.

Bannyonnyola nti Don Nasser bwe yava mu kkomera gye buvuddeko, yatuula ne Nnaalongo Kiweesi ne bafuuka ba mukwano. Kigambibwa nti Nasser yagamba Nnaalongo nga bwe yali awadde Kyeyune ddoola 400,000 ku ssente ze baali baafuna mu ddiiru gye baakola ku mukazi w’e Dubai Omurrusia.

Kyokka ye Kyeyune yali yagamba Nnaalongo nti Don Nasser yamuwa ddoola 150,000 zokka. Kino kyatabula Nnaalongo n’ava ku Kyeyune ne yeegatta ne Nasser okulwanyisa Kyeyune nga balowooza nti “yayisaawo” Nasser.Kigambibwa nti ddiiru eno, yalimu abantu bataano- Don Nasser, Nnaalongo Kiweesi, Shira Namale (Looya), Eddy Kyeyune n’omuserikale wa poliisi Hassan Mutyaba.

Nnaalongo Kiweesi, yali abeera Dubai era ye yaleeta ddiiru eno ku Munnansi wa Russia amanyiddwa nga Noor Khan nnannyini kkampuni ya Nat Metal DMCC e Dubai esuubula zaabu n’ebyobugagga by’omu ttaka. Alina ne saluuni e Dubai. Kigambibwa nti Naalongo yakola ku Murussia omukwano oluvannyuma lw’omuwala Munnayuganda eyali akola mu maka ga Noor Khan okubbira ku Nnaalongo nti Noor Khan alina ssente empitirivu n’ezimu talina byakuzikozesa.

Nnaalongo bwe yakwana Noor Khan yamwanjulira Don Nasser nga muganzi we era awo enkolagana we yatandikira wakati wa Noor Khan ne Don Nasser. Yamweyanjulira nti musuubuzi Munnayuganda asima zaabu, okumusuubula n’okumutunda. Yamutegeeza nti yalinawo kiro za zaabu 950 kyokka e Dubai yali agenze ku bizinensi ze ndala. Bwe baamala okwogera ne Noor Khan, ddiiru Nasser yagizzaayo mu banne ne baluka engeri y’okugitambuzaamu.

Kigambibwa nti mu bbanga ttono, Noor Khan yawa Nasser ddoola obukadde buna n’ekitundu (4,500,000) mu za Uganda 16,650,000,000/-. Ensonda mu ISO zaategeezezza nti Nasser olwamala okukwata ssente, banne bwe baali mu ddiiru yabayitamu teyabakombya ku ssente okuggyako Kyeyune gwe yawaayo ddoola 150,000.

Noor Khan oluvannyuma lw’okukizuula nti yali anyagiddwa, yakubira Nnaalongo essimu ng’amubuuza Nasser gy’ali kubanga yali amubbye ddoola 4,500,000. Nnaalongo olwamanya nti Nasser afunye ssente kwe kutandika okubanja. Bwe yawulira nti Nasser poliisi emukutte, kwe kukomawo mu Uganda naye ateekeyo omusango ng’akolagana ne Noor Khan. Oluvannyuma lwa Nasser okuyimbulwa, yasobola okumatiza Nnaalongo ne baddamu okukolagana.

Kigambibwa nti Kyeyune okuva olwo abadde amutiisatiisa era wano we baavudde okutwala omusango mu ISO n’ekwata Kyeyune.Muganda wa Ivan Ssemwanga era y’omu ku bavubuka abaali bamansa ssente mu kabinja ka Rich Gang. Kaalimu Ssemwanga, King Lawrence, Kyeyune n’abalala. Ssemwanga bwe yafa mu 2017, akabinja ne kaggwaamu amaanyi kyokka ne basigala nga batambuza obulamu. Kyeyune amanyiddwa nnyo mu kuvuga mmotoka ez’ebbeeyi okuli amannya ge ge yeebatiza aga Ed Cheune.

Bamuzaala Kayunga gye yava okuyingira Kampala mwe yamala ebbanga oluvannyuma Ssemwanga n’amukwatako okumutwala e South Afrika.

POLIISI EKYALEMEDDE MUKA MBUGA

Muka Mbuga poliisi gwe yasoose okukwata, ekyamulemedde wadde ng’aba famire ye babadde balwana okumuggyayo. Ku Lwokutaano bwe yaggyibwa ku kitebe kya bambega ba poliisi, yatwalibwa ku poliisi ya Kira Road e Kamwokya.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate yagambye nti bakyalina bingi bye bakyanoonyereza alyoke atwalibwe mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka1 220x290

Kabaka asibiridde Abaganda entanda...

SSAABASAJJA Kabaka Ronald Mutebi agguddewo Olukiiko olw’omulundi ogwa 27, n’akubiriza Obuganda okussa mu nkola...

Fire1 220x290

Obubenje bwatuze 32 mu wiikendi...

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Urawebnew 220x290

URA emalidde mu kyakutaano mu za...

URA FC ewangudde Wakiso Giants mu mpaka za Pilsner Super 8