TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

By Dickson Kulumba

Added 18th February 2019

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Jip1 703x422

Bisopu Neofitios ng'akwasa Bisopu Kisitu omuggo gw'abwa Bisopu

BISOPU w’abasodokisi e Gulu n’Obuvanjuba bwa Uganda, Bp. Silvester Kisitu yatuuziddwa ku bukulu buno ng’omukolo guno gwakoleddwa Ssabasumba w’Eklisia ya Uganda, Metropolitan Jonah Lwanga.

Metropolitan Lwanga yasomye obubaka bwa Paapa w’Abasodokisi ku lukalu lwa Africa, Theodorous II obukakasa Bp. Kisitu nga Bisopu asoose ow’ekitundu kino era naasaba abakkiriza okumwaniriza okusobola okutwala Klezia mu maaso.

Omukolo guno gwabadde ku Lutikko y’Omutukuvu Lavrentios ku kyalo Rom mu ggombolola y’e Koro mu Disitulikiti y’e Omoro ku Ssande February 17,2019. Ono agenda kutwala ekitundu kya Klezia eky’Obukiikakkono (Northern) n’Obuvanjuba (Eastern).

Wasoosewo mmisa ate oluvanyuma Bp. Lwanga naasoma essaala ezigenda ku kikolwa ky’okutuuza Bisopu era olwazimaliriza, Metropolitan Innocentios Byakatonda atwala Burundi ne Rwanda namwambaza enkofiira y’Obwabisopu ate oluvanyuma Bp. Neofitos Ow’e Nyeri & Mt. Kenya mu ggwanga ly’e Kenya naamukwasa omuggo.

Bano bamukutte nebamutwala ku  ntebe ye, okutuuzibwa nga kino olwawedde, nayogera eri Klesia mweyalambululidde ebyo byagenda okuteekako essira okuli okutumbula embeera z’abaana. Yasabye abakkiriza okumusemberezanga abato wonna waali kubanga ayagala okulaba nga bakuzibwa bulungi mu mwoyo, ebyenjigiriza,mu by’obulamu kubanga gwe musingi gwa klesia ogw’enkya.

Pulezidenti Museveni yakikkiriddwa Minisita ow’ebiggwa tebiraze n’abanoonyi b’obubuddamo, Hillary Onek eyasomye obubaka bwe mweyasabidde Klesia okwongera okukubiriza abakkiriza enjiri y’okugoba obwavu nga benyigira mu bintu ebivaamu ensimbi.

Viika w’eklisia, Fr. Paul Mutaasa n’akulira oludda oluvuganya gavumenti, Betty Ochan bebazizza abakkiriza Abasodokisi wamu ne bannaddiini ab’enzikkiriza ez’enjawulo mu kitundu kino olw’okwaniriza Bp. Kisitu nebagamba nti kino kyekigenda okutwala ekitundu kino mu maaso.

Omukolo gwetabiddwako Bannaddiini bangi, abakulembeze mu biti eby’enjawulo mu Bukiikakkono okuli n’abatwala enzikkiriza mu Acholi, Omubaka Theodore Ssekikubo ow’e Lwemiyaga nga naye Musodokisi.

Bp. Kisitu 37, yayawulibwa ku bwa Bisopu nga December 16,2018 mu Lutikko y’Omutukuvu Savvas mu kibuga Alexandria e Misiri ng’eno y’esangibwa ekitebe ky’Aabasodokisi mu Africa. Yakomyewo e Uganda nga January 25,2019 ate nayimba mmisa ye eyasooka mu Uganda nga Bisopu nga January 27,2019 mu Lutikko y’omutukuvu Nicholas e Namungoona.

Ku Ssande February 24,2019, omukolo gwe gumu gwakukolebwa mu kibuga Jinja (Obuvanjuba bwa Uganda) mu kaweefube w’okusembereza abakkiriza omukulembeze waabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte