TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

By Musasi wa Bukedde

Added 19th February 2019

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Liv1 703x422

ENSIMBI obukadde 30 omukulembeze w’e ggwanga bweyawa aba taxi b’e Kamwokya zibatabudde kubula kugwangana mu bulago olw’engabana n'ensasanya okubula.

Aba Taxi bano abegattira mu kibiina kya New Kamwokya Taxi Driver’s And Conductor’s  Association abakulemberwa Emmanuel Lutakome bebali mu kulwanagana oluvanyuma lw’ensimbi zino okubatabula nebekutulamu ebiwayi bibiri okuli ekya Ssentebe Lutakome nekya Abudal Rashid Ssebukyu abawakanya engeri ssentebe nakakiike gyebabulankanyamu ssente zino zebatabawaako mbaliririra nga bano badukira mu ofiisi ya RCC wa Kampala Farida Mayanja Mpiima ne ku poliisi ya Kira Rd okufuna obwenkanya.

Mu Lukiiko olw’ategekeddwa RCC  ku Kisaawe kya Kira Rd poliisi okutabaganya enjuuyi zombi Ssebukyu yategezeza olukiiko nga ssente zino Pulezidenti zeyabawa bwezatuuka mu ofiisi yabwe Ssentebe Lutakome yasalawo okuzigulamu e mmotoka ya stage nga tabagambye lwadde ba memba b’akakiiko ke kyebakiriza wabula ate okuwulira ssentebe ng’abagamba emmotoka yaguliddwa ku looni era erina okukola ssente ezijisasula
okujimalayo ekintu kyebatakiriziganya nakyo kubanga ssente ezabaweebwa
zali zimala okugula emmotoka.

Ono agamba basalawo okukwata emmotoka nebajitwala ku poliisi ya Jinja Rd okufuna ekituufu wabula nga ssentebe yalemwa okunyonyola ebikwata ku mmotoka era okuva olwo bebakwata ssente z’ayo era ono yasabye olukiiko lwa Lutakome okubawa embaliririra bukyanga bayingira mu ofiisi nga kino kyawadde omuwandiisi  w’ekibiina kino obuzibu okunyonyola olukiiko embalirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte