TOP

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 19th February 2019

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Lab2 703x422

Joshua Yumba ng'apooca n'obulumi ku kitanda e Mulago

OMUSAJJA eyakubibwa  amasasi mu kwekalakasa e Hoima alajanidde abazirakisa okumuddukirira.

Joseph Yumba 45 ng’ono mutuuze we Kasingo ekisangibwa e Hoima ye yasangiddwa ku kitanda  e Mulago mu Kasenge awajanjabibwa ab’amasasi ( Trauma ward)  n'alombojja ennaku  gyalabidde ku kitanda oluvannyuma lw’okukubibwa abasirikale ku poliisi ye Hoima amasasi bwebabadde  bagumbulula abekalaakasi essaasi ne limukwata bweyali  ayita okumpi  n’ekifo we baali bekalaakasiza.

Ategeezezza nti  oluvannyuma lwokukubwa  amasasi  maka ge gagootana  mukyalawe  gwalinamu baana  bataano n'atuuka okumwabulira ekyamuwaliriza okukubira   nnyina  Kevin Nsita asobole okumujanujaba.

Kigambibwa nti Yumba oluvannyuma lw’okubwa masasi  ku Sande wiiki ewedde  abaddukirize bamusoosa mu ddwaaliro ly’e Hoima  kyokka oluvannyuma lw’embeera ye okutabuka basawo  mu ddwaaliro elyo bawaolirizibwa okumwongerayo e Mulago  mu Kampala  gy'akyajanjabibwa naye nga mu kiseera kino agamba nti talina buyambi wadde akasente

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte