TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 19th February 2019

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Mum2 703x422

OFIISA wa poliisi Herbert Muhangi akulira ekitongole kya Flying Squard oluyimbiddwa ku kakalu ka kkooti naddamu n'akwatibwa.

Muhangi essanyu ly’okuyimbulwa libadde lyakiyita mu luggya nga tewayise na ssaawa naddamu okukwatibwa ku kkooti w’ennyini webasoose okuyimbula ku kakalu.

Lt Gen Andrew Gutti ssentebe wa kooti yasoose kukkikiriza Muhangi okweyimirrwa ku kakalu ka bukadde 10 ezitali zabuliwo nabamweyimiridde obukadde butaano ez’obutaliiwo kyokka abadde yakabuuza ku bantu nga ababadde bamwetaaga nabo bali mu lujja lwa kkooti nga balinze.

Amangu ddala Muhanagi abajaasi okubadde nabali mu ngoye zaabulijjo bamutadde mu mmotoka yamagye ekika kya double cabin n'atwalibwa nga ayisiddwa mabega wa kkooti ewayita abakulu natwalibwa mu kifo aba famire nabo keyabatategedde.

Bo abafamire ababadde banonye omuntu waabwe basigadde mu maziga oluvanyuma nabo bavudde ku kkooti ne bagenda.

Muhangi avunaanibwa wamu neyali omuduumizi wa poliisi Gen Kayihura ne bofiisa abalala ku misango gyokuwamba bannansi b’e Rwanda abaali banoonya obubudamu mu Uganda ne babaza e Rwanda ssaako okuwa abantu ebyokulwanyisa nga tebalina kubeera nabyo nga mu bano kwekuli nokuli kitatta emmundu..

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...