TOP

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

By Joseph Makumbi

Added 19th February 2019

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Dav1 703x422

Muhoozi Kainerugaba ng'ayambazibwa ennyota y'obwa Lft Gen

ABAJAASI Pulezidenti Museveni beyakuzizza bayambaziddwa ennyota ne balagirwa okukozesa amadaala gebafunye okugakozesa okwongera empisa mu bajaasi bebakulembera.

Abajaasi okuva ku ddaala lya Genero (Gen.) okutuuka ku kano (Col.), bayambaziddwa ennyota zaabwe ku kitebe ky’amagye e Mbuya olwaleero  ate abalala okuva ku ddaala lya Lefutinannti kano (lt. Col.) okukka wansi ennyota zaabwe zijja kubambazibwa mu bitundu byabwe gyebakolera.

Ku baayambaziddwa ennyota kubaddeko ba Genero babiri, Gen. Ivan Koreta ne Gen. Joram Mugume. Ba Lefutinanti Genero baabadde 9. Lt. Gen. Pecos Kuteesa, Lt. Gen. John Mugume, Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso ataabaddewo, Lt. Gen. Charles Otema Awanyi, Lt. Gen. Peter Wrwelu, Lt. Gen. Charles Lwanga Lutaaya, Lt. Gen. James Mugira, Lt. Gen. Joseph Musanyufu ne Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba.

Abaakuziddwa okutuuka ku ddaala lya Major Genero abaayambaziddwa ennyota kwabaddeko Maj. Gen. Joram Kakari Tumwine, Maj. Gen. Samuel Wasswa, Maj. Gen. Elly Kayanja, Maj. Gen. Mukasa, Maj. Gen. Stephen Sabiiti Muzeyi amyuka aduumira poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Samuel Kawagga aduumira ebikwekweto by’amagye mu Kampala, Maj. Gen. Eric Leopold Kyanda, Maj. Gen. Don William Nabassa aduumira eggye erikuuma pulezidenti n’abalala okutuuka ku baakuziddwa okutuuka ku ddaala lya Colonel.

Ssabbiiti Mzee ng'ayambazibwa ennyota

Gen. Ivan Koreta eyayogedde ku lwa banne abaakuziddwa yagambye nti, okukuzibwa mu magye kabonero akalaga obwesigwa naye amayinja agaba gabaweereddwa gabeera getaaga okukwata n’obwegendereza.

Yakubirizza banne bonna bwebaakuziddwa okweyisa obulungi basikirize abalala abatanakuzibwa okubeera abajaasi ab’empisa ate bafeeyo ku bajaasi abali wansi wabwe.

Yagambye nti, okufuuka kyebafuuse kyonna, amaanyi bagaggya ku bakyala baabwe abababeereddewo mu mbeera yonna nebatabavaamu.

Gen. David Muhoozi aduumira UPDF yagambye nti, UPDF yeebafudde kyebali naagamba nti kikulu nnyo okujjukira amakulu g’amayinja mu magye. Yategeezezza abaakuziddwa nti, kyamuwendo okuwereza mu UPDF naagamba nti, bateekeddwa okukuuma empisa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...