TOP

Yunivasite y’e Makerere ezzeemu okuggulawo

By Scovia Babirye

Added 20th February 2019

OLUVANNYUMA lw’omwezi mulamba ng’abayizi ba yunivasite y’e Makerere tebasoma olw’abasomesa okusuulawo ebikola, kyaddaaki yunivasite yagguddwaawo mu butongole era emirimu ne giddamu okutambula.

Pala 703x422

Abayizi b’e Makerere nga bali mu kibiina basoma

Okusinziira ku akulira eby’empuliziganya n’enkolagana z’amawanga ageebweru mu yunivasite eno Dr. Muhammad Kiggundu, akakiiko akafuzi ak’oku ntikko kakkirizza okukola ku nsonga z’abasomesa era mu mwezi gumu buli kimu kijja kuba kiteredde.

Wabula wabaddewo ebigambibwa nti olukiiko oluddukanya Makerere olw’oku ntikko lwaggyeeko olukiiko olufuzi obuyinza olw’okuteeka entalo zaabwe ez’obuntu mu nzirukanya y’emirimu gya yunivasite.

Kino Kiggundu akitangaazizza nti olukiiko olw’oku ntikko lwasazeewo okuggyawo akakiiko Polof. Barnabas Nawangwe keyali yateekawo okunoonyereza ku mivuyo era ne lusalawo akakiiko akavunaanyizibwa ku kugaba emirimu mu yunivasite ke kaba kanoonyereza ku mivuyo wamu ne ku basomesa abaayimirizibwa ku mirimu okuli; Dr. Deus Kamunyu Muhwezi, Bennet Magara ne Joseph Kalema.

Ono yagasseeko nti emirimu gya yunivasite gitambulira ku masiga 3 okuli; akakiiko akafuzi ak’oku ntikko, olukiiko olufuzi n’abakozi naye abasomesa ebizibu byabwe babikwasa kakiiko ka ku ntikko era ke kabikolako naye ssi ke kaddukanya emirimu.

Kinajjukirwa nti okuva olusoma luno bwe lwatandika nga January 19,2019 abasomesa baasuulawo ebikola nga bagamba nti yunivasite esooke etereeze amateeka agabanyigiriza ge bbaatekawo era enkiiko nnyingi zibadde zituula okulaba ng’abasomesa badda ku mirimu gyabwe.

Ku mwezi omulamba abayizi gwe basubiddwa nga tebasoma Kiggundu yategeezezza nti olukiiko lugenda kutuula okulaba oba abayizi babongeramu obudde basobole okuliyirirwa bye baasubwa.

Amyuka ssentebe wa MUASA Dr. Edward Mwavu, yategeezezza nti bawadde akakiiko ak’oku ntikko omwezi gumu okutereeza ensonga zaabwe omuli okutereeza amateeka aganyigiriza abasomesa, okukomyawo abasomesa abaawummuzibwa nga tebabagguddeeko musango gwonna n’okukkiriza omukiise wa MASA gwe baalonda okubakiikirira ku lukiiko olufuzi olw’oku ntikko era bwe bitakolwako akeediimo kaddamu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be