TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi 400 basobeddwa olwa UNEB okukwata ebigezo byabwe

Abayizi 400 basobeddwa olwa UNEB okukwata ebigezo byabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2019

ABAZADDE b’abayizi abawera 400 mu muluka gw’e Kabule mu munisipaali y’e Mityana bakaaba olw’ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB okugaana okuta ebigezo by’abaana baabwe ebyakwatibwa.

Mwana 703x422

Abayizi ku ssomero lya Kabule R/C awaatuulira amasomero amalala ebigezo ne bikwatibwa.

Abayizi 300 abaali basomera mu masomero musanvu okuli; Kabule C/U, Kabule R/C, Genesis, St Elvis Primary, Open Heart, Kinene Tripple Primary ne Children of Grace.

Gonna gaatuulira ku Kabule R/C ebyembi ebigezo ne bikwatibwa ku bigambibwa nti baakoppa.

Embeera yeeyongera okwonooneka abayizi abawera 100 abaatuulira S.4 ku ssomero lya Township Academy eritunuuliganye ne Kabule R/C nabyo bwe byakwatibwa. Joan Nakate omutuuze ku kyalo Luwonvu ebiyengeyenge byamuzze bwe yabadde attottola ennaku gy’alimu.

“Ebigezo by’abaana bange basatu byakwatiddwa ng’ababiri babadde basomera ku Kabule C/U ate omulala abadde ku Township Academy.

Abasomesa be nsuubira okuba nga be baavuddeko obuzibu tebalina kye bayinza kutuyamba wadde okutukendeereza ku fiizi. Abaana nasazeewo okubakyusiza amasomero kuba eky’okukola sirina era bazzeemu ebibiina.”

Ye Badru Mutebi ne muwala we Jalia Nagaddya eyatuulira ku Kabule C/U.

Yakukkulumidde ekitongole kya UNEB n’agamba nti kyandibadde kifuna enkola etanyigiriza bazadde kuba abaana naddala abawala baakubembekereze okugnda okusoma.

Resty Nakasejira maama wa Proscovia Namatovu eyali asomera mu St. Elvis n’atuulira ku centre ya Kabule R/C yagambye nti okuva ebigezo by’omwana we lwe baabikwata takyebaka kuba yeebuuza eky’okukola nga takiraba. Yagambye nti wakati mu bugubi agenda kumuzzaayo addemu P.7.

Agnes Nakasula alina omwana eyakwatiddwa ebibuuzo yabuuzizza omugaso gw’abakuumi abasindikibwa UNEB gye babeera ng’abayizi bakoppa.

Paulo Nyanzi, omumyuka wa ssentebe wa LC 1 e Kabule yagambye nti ekyatuuse mu kitundu kyabanyogozza kuba kizibu okubuuka amaka agawera asatu n’otasangamu muyizi akaaba olw’ebigezo bye obutakomawo.

Masitulah Nambatya atwala ebyenjigiriza e Mityana yagambye balumirwa wamu n’abazadde n’agumya abazadde abaafuna obuzibu obutaggwaamu maanyi wabula bazzeemu abaana basome.

ABASOMESA BEGAANYE EKY’OKUKOPPA

Omukulu w’essomero lya Township SS eyagaanye okwogera amannya ge yakkirizza nti kituufu ebibuuzo byakwatibwa nga mu kiseera kino balinze kuyitibwa UNEB mu butongole bennyonnyoleko.

Joseph Kiwanuka akulira Kabule R/C awaatuulidde amasomero omusanvu yategeezezza nti aba UNEB baabawandiikidde ebbaluwa ng’ebayita okugenda n’abayizi abaatuula P.7 bennyonnyoleko.

Yegaanye eky’okubba ebigezo n’agamba kyandiba nga kiva ku nteekateeka ya UNEB ekyabulamu. “Essomero lya Kabule R/C lyenkulembera lirina centre eyeetongodde.

Laba bwe batugatta ne Kabule C/U nabo abalina centre eyaabwe ne tukolera wamu ebibuuzo.

Baakikola kukekkereza nsimbi za bakuumi kyokka ne muvaamu obuvuyo,” Kiwanuka bwe yagambye.

Ye omukulu w’essomero lya Kabule C/U yagaanye okubaako ky’ayogera ku kusazibwamu kw’ebibuuzo.

Ate Ritah Nansereko akulira Genesis Infant and Primary yagambye nti lino ssomo lyayize era agenda kulwana okulaba ng’ava mu kubereka essomero lye ku ssenta endala kuba baabalanze bw’emage. “Ffe tukozesa maanyi so si kukoppa.

Tusaasira abazadde abaasasulidde ebisale okumala omwaka kyokka ebigezo ne bitadda.

Ebizibu mu masomero g’omu Kabule bingi era abamu babimanyi. Mukama y’asinga okumanya,” Nansereko bwe yategeezezza.

UNEB EYOGEDDE EKYAKWASIZZA EBIGEZO

Omwogezi w’ekitongole kya UNEB Retisha Naigaga yayogedde ku nsonga ezivaamu okusazaamu ebigezo n’ategeeza nti; “Ensonga ezisazisaamu ebigezo tezitera kwawukana.

Essomero eryenyigira mu kukoppa abalikulira bayitibwa ne balagibwa obujulizi oba ensonga ekwasizza oba esazisizzaamu ebigezo byabwe. Abakulira ssenta ezo gye baakwatira ebigezo baayitibwa ne baasomerwa lipooti ne kalonda yenna akwata ku bibuuzo byabwe.

Buli atumwa okukuuma ebibuuzo ku senta awandiika lipooti era zitunuulirwa n’obwegendereza. Ebiri mu lipooti bwe bisangibwa nga birina akakwate ku bayizi bye baawandiise , tuwalirizibwa okusigaza ebibuuzo by’abayizi nga tukyabyekeneenya.

Okukwatibwa kw’ebibuuzo tekutegeeza ku bisazaamu.

Ebibuuzo ebikwatibwa bisigala byekenneenyezebwa era bingi bikwatibwa oluvannyuma ne biteebwa. Naigaga bwe yatangaazizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mpolo9webusebig 220x290

Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi...

Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika yasabye ebika okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi...

Renah1 220x290

Renah Nalumansi azaalidde maneja...

Omuyimbi Renah Nalumansi azaalidde Justin Bas omusika ne yeewaana "sikyali mu kiraasi ya ba laavu nigga"

Tegula 220x290

Mutabani, buno bwe butaka bwaffe...

MUTABANI wa Bobi Wine akuze. Era nga taata ow’obuvunaanyizibwa, Bobi Wine takyaleka mutabani we waka.

Fun 220x290

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss...

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka...

Kubayo 220x290

Eddy Kenzo Guma newange bibuuza...

ABAYIMBI Jose Chameleone ne Eddy Kenzo baabaddeko mu kivvulu kya Wizkid e Lugogo. Baalabiddwaako nga beesika mu...