TOP

Abamerika bakubye Trump mu mbuga

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2019

ABAKULEMBEZE b’amasaza g’America 16 bawawaabidde Pulezidenti Donald Trump nga bamulumiriza okwagala okukozesa obubi ssente z’omuwi w’omusolo ng’ayagala okuzimba ekisenge kya bbugwe ayawula America ku Mexico.

Wiiki ewedde Trump yalangiridde nga bwe kijja okumwetaagisa okweyambisa ezimu ku ssente z’ebigwa bitalaze okuzimba bbugwe.

Kyaddiridde olukiiko lwa Congress okugaana okuyisa obuwumbi bwa ddoola za Amerika 5.7 ez’okuzimba bbugwe.

Kino abakulembeze b’amasaza baakiwakanyizza ddala wadde nga kye kimu ku bisuubizo Trump bye yasuubiza abalonzi ng’anoonya obululu.

Trump yalangiridde ng’ensonga eno bweri eyaakatyabaga mu ggwanga nga kimwetaagisa n’okweyambisa ssente z’ebigwa bitalaze okusobola okujja ekizibu kino mu ddiiro.

Abaawaabye omusango ku Mmande mu ssaza ly’e California baagala kuyimiriza Trump obutagenda mu maaso na nteekateeka ze nga bagamba nti talina buyinza bukyusa ssente ezaayisibwa edda olukiiko lwa Congress era nga ne kye yayise ekiseera ekyakatyabaga tekyetaagisa.

Ssaabawolereza w’essaza ly’e California, Xavier Becerra yalabudde Trump akomye okutwala ofiisi y’obwapulezidenti ng’obwakazanyirizi.

Yaweze nti bagenda kukozesa amakubo g’amateeka gonna okuwakanya enteekateeka eno.

Amasaza amalala agaaloopye kulilko; Colorado, Connecticut, Delaware, Hawaii, Illinois, Maine, Maryland, Minnesota, Nevada, New Jersey, New Mexico, New York, Oregon, Virginia ne Michigan.

Mu mbalirira ya Trump kyetaagisa obuwumbi bwa ddoola 23 okusobola okuzimba bbugwe aweza obuwanvu bwa mayiro 2000.

Ensalo eno agamba nti eyingiza abantu abajja n’ebiragalalagala mu Amerika.

Trump yawera dda nti wadde wakyayinza okuvaayo abamuwawaabira olw’okuzimba bbugwe, kyokka teyali waakumuyimiriza kuba kyali kigendereddwaamu okunyweza byakwerinda.

Kyokka abamuwakanya bagamba nti bangi ku bantu abali mu America mu bukyamu beebo abaasigalayo oluvannyuma lwa Viza zaabwe okuggwaako nga n’ebiragalalagala ebisinga okuyingira mu ggwanga biyita ku mwalo kyokka teyali waakumuyimiriza kuba kyali kigendereddwaamu okunyweza byakwerinda.

Kyokka abamuwakanya bagamba nti bangi ku bantu abali mu America mu bukyamu beebo abaasigalayo oluvannyuma lwa Viza zaabwe okuggwaako nga n’ebiragalalagala ebisinga okuyingira mu ggwanga biyita ku mwalo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...