TOP

Ssegawa gwe yalonda mu bakazi 50 amudduseeko

By Josephat Sseguya

Added 20th February 2019

OMUYIMBI Vincent Ssegawa atabuse n’omukazi gwe yakozesa yintavuyu n’asinga abalala 50 mwe yamulonda.

Segawa1 703x422

Ssegawa n’abamu ku bawala abaagenda ku wooteeri mwe yalonda Mbabazi.

Oyinza okugamba nti wadde yintavuyu omuwala ono yagiyita naye ate omu ku babiri yagigwa bwe baatuuka awaka.

Anti Prossy Mbabazi yatambula butambuzi n’addayo mu bakadde be ng’ebya Ssegawa bimulemye.

Ssegawa agamba nti yasemba okulaba Mbabazi ku Ssekukkulu ya 2018, kati bamaze emyezi ebiri nga tebali bombi ate nga Ssegawa ne bw’akuba ssimu, omukazi takwata.

Yamulonda nga October 28, 2018 ku bbaala ya Holy Fam e Nansana n’ayawukana naye nga bamaze ennaku 45 zokka.

Ssegawa nga ye yayimba ‘Basajja kubula, Ssappule tuzambulemu, Abaasomoka Lwera n’endala yavumirirwa abantu ab’enjawulo okukuηηaanya abawala abangi omwali n’abakyala abattuludde mu kifo kimu ate nga buli omu yali amukakasizza nti y’aliwo yekka.

SSEGAWA ANYUMYA BWE BAATABUSE

“Abazadde baamutumya nti asooka kunnyanjula ne tulyoka tubeera ffenna ate nga bampadde akabanga katono.

Nagenze okubalamu nga neetaaga ssente obukadde 60 omukolo okubaawo.

Kyampisizza bubi kubanga twanditudde ne munnange naye ate okumpa ebiragiro nga temuli kuteesa.

Singa saakyala wa ssengawe gwandinsinze naye nagendayo ne neeyanjula.

 segawa ne babazi Ssegawa ne Mbabazi.

NJA KUTWALA KU BALI MU MPAKA Z’OBUBINA

Agattako nti; Ekyantabudde nga ne Mbabazi ali ku ludda lwa bazadde be era n’agenda teyakomyewo.

Naye ate yaηηamba nti alina olubuto naye ayinza okuba yannimba kubanga owoolubuto teyandindeseewo.

Kati nange muwadde akadde katono akomewo bw’atakikola ηηenda kuddamu okunoonya omulala.

Oba si kyo ηηenda kulinda abawala abavuganya mu mpaka za minisita Kiwanda ez’obubina (Miss Curvy Uganda) ntwale anaawangula.

Bw’anaaba annemye, bwe naddamu okulangirira okulonda mu bawala abalala nja kussa essira ku muwala ow’akabina.

Nina obulumi kubanga nali mmaze emyezi munaana ng’omukazi (Jamira) andeseewo ate kati mmaze emyezi ebiri nga ne gwe nali nfunye agenze.

Awaka nze ndabirira abaana, okweyoleza, okufumba n’ebirala ebigenda okumpaliriza okuddamu okunoonya omukazi omulala.”

ABANTU BYE BAGAMBA

1. Ebyo nga tebinnabaawo, Ssegawa yasooka kulaba bifaananyi bya Mbabazi ng’ali n’omusajja omulala nga kigambibwa nti ye yali muganzi we gwe yasuulawo.

2. Waliwo abagamba nti Ssegawa ayagala kukozesa bukozesa bakazi nti ne ku luno ayagala bamusondere ssente z’emikolo azirye.

3. Abalala bagamba nti abakazi bangi be yalekawo ate agira n’abasisinkana ne banyumya ekinyiiza Mbabazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...