TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai yenna: Mu mwaka gumu bafunye abalambuzi obukadde bubiri

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai yenna: Mu mwaka gumu bafunye abalambuzi obukadde bubiri

By Paddy Bukenya

Added 20th February 2019

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu” y’ebifaananyi era nga kati ky’ekizimbe eky’enkula eno ekisinga obunene mu nsi yonna.

United1 703x422

Ekizimbe kya Dubai Flame ekisomba abalambuzi nga bwe kifaanana. Ekizimbe kya Burj Khalifa ekisinga obuwanvu mu nsi yonna.

Ku kizimbe kino ekyatuumiddwa “Dubai Frame” kw’oyimirira n’olaba ekibuga Dubai kyonna era kati kye kimu ku bisinga okukuηηaanya abalambuzi.

Baakimalirizza mu January w’omwaka oguwedde, wabula abagenda e Dubai, bwe bavaayo nga tebakituuseeko n’eby’okunyumya biba bitono era kye kimu ku bisinga okwogerwako ennyo mu United Arab Emirates ne mu nsi yonna.

Mu mwaka gumu kifunye abalambuzi abakunukkiriza obukadde obubiri era basuubirwa okweyongera mu myaka egiddako.

Baakizimba mu ngeri ya njawulo nnyo kubanga akasozi we baakiteeka kakusobozesa n’okulaba akasongezo k’ekizimbe kyabwe Burj Khalifa nga kino kyalangirirwa mu 2010 nti kye kisinga obuwanvu mu nsi yonna.

Burj Khalifa abamu kye bayita Burj Dubai ekisinga obuwanvu mu nsi yonna kiriko emyaliiro 163 era kiriko ffuuti 2,717 (mmita 828).

Ekizimbe kya Dubai Frame kiriko ffuuti 492 (mmita 150) wabula ate kw’osobolera okulaba obulungi ebiri waggulu ku Burj Khalifa.

Obugazi kiriko mmita 93 era baakiyungira ku lutindo lwa mmita 100.

Baakiteeka mu kitundu kye Zabeel Park wakati mu kibuga Dubai nga ku buli ludda gy’okyusa amaaso, ebiri mu kibuga Dubai byonna obiraba bulungi.

 balambuzi nga bagenda okulaba ekizimbe kya ubai lame Abalambuzi nga bagenda okulaba ekizimbe kya Dubai Flame.

Osinga kusaamaalirira ng’otunudde obukiikakkono kubanga amaaso gasookera ku Old Dubai n’ogatambuza ng’ogazza ku bubuga obulala obwa Dubai okuli Bur Dubai, Deira, Karama, Umm Hurair ne Dubai Creek.

Ekizimbe kya Dubai Frame kyamenyeewo eky’e China ekiri mu kikula kye kimu, ekimanyiddwa nga CCTV Tower nga kuno kwe kuli ekitebe kya Ttivvi ya China eyitibwa CCTV era nga kino kyakula ng’empale empanvu.

EBISAMAALIRIZA EBIRI MU KIZIMBE

Rom Bautista ow’ekitongole kya Arabian Adventures ekiri wansi wa kkampuni ya Emirates bwe yabadde alambuza owa Bukedde ekizimbe kino yagambye nti: Ekifo kino kati ky’ekyobulambuzi ekisinga okusomba abantu okuva mu mawanga ag’enjawulo kubanga kikulaga Dubai yenna n’ebyafaayo by’ekibuga kino byonna.

Wansi w’ekizimbe nawo bassaawo amazzi agazina nga gatambulira ku nnyimba enseneekerevu, okufaananako n’ago agali ku wooteeri ya Burj Al Arab Jumeirah. Oluvannyuma lw’okunyumirwa amazzi agayimba, awo w’ova n’oyingira mu kizimbe ekirimu eby’obulambuzi eby’enjawulo.

Osookera ku mwaliiro oguliko “myuziyamu” we bateeka ebintu eby’edda. Muno mw’osanga Ekitabo ekyasooka okuwandiikibwa mu United Arab Emirates n’ebyafaayo ebirala ebinnyonnyola Dubai gye yatandikira nga kifo kya bavubi n’abalunzi okutuuka ku kibuga eky’amaanyi ekisinga okwettanirwa abasuubuzi mu nsi yonna.

 kibuga ubai nga bwokirengera ngoli ku kizimbe kya urj halifa ekisinga obuwanvu Ekibuga Dubai nga bw’okirengera ng’oli ku kizimbe kya Burj Khalifa ekisinga obuwanvu.

Bw’ova ku myaliiro gy’ebyafaayo n’ebyedda (myuziyamu) n’olyoka oyolekera entikko y’ekizimbe ng’eno abasinga gye bayaayaanira okutuuka. Eno gy’osanga endabirwamu eng’omu ezisobola okutambulirwako abantu nga 10.

Ng’oggyeeko okulaba Dubai ng’okozesa amaaso erudda n’erudda, baakwongererawo endabirwamu era bw’ogitunulamu olaba Dubai yenna era n’ebizimbe byamu, ebimpi n’ebiwanvu.

Endabirwamu eno ekulaga n’enguudo za Dubai omuli eziyita waggulu n’eza wansi era n’emmotoka ezitambulirako oba oziraba bulungi mu njogera enyangu ng’ekibuga kyonna okiraba kikuli mu ttaano!

Wano abantu we basinga okweyiwa okulaba endabirwamu esamaaliriza. Ekisinga okusanyusa abalambuzi kwe kutuuka ku ntikko y’ekizimbe kubanga ku bizimbe nga Burj Khalifa, abalambuzi babakomya ku mwaliiro gwa 148 nga bakozesa “lifuti” era ababa basigaddemu okuwankawanka olw’obutatuuka ku ntikko ya kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, ekikubagizo bakifunira ku Dubai Frame.

Bw’omala okwetegereza ebiri ku kizimbe n’engeri gye baawunda ekifo, omaliriza otegedde lwaki Dubai Frame mu kiseera kino kye kimu ku bifo ebikulembedde mu kuyingiza ssente z’obulambuzi mu ggwanika lya United Arab Emirates.

 buti obusangibwa mu ddungu mu ubai Obuti obusangibwa mu ddungu mu Dubai.

lEkizimbe kino kyamalawo obukadde bwa ddoola obukunukkiriza 44 nga mu za Uganda zisukka mu buwumbi 160.

Kyawundiddwa mu ngeri etemagana nga zzaabu era buli akirengera asikirizibwa okukituukako.

lOkuva ku makya okutuuka obudde okuziba, abantu babeera mu nnyiriri eziyingira ekizimbe okulambula wabula buli ssaawa bagibalira abantu abatasukka 200 okwewala omujjuzo.

Tikiti ekuyingiza olina kugigula ggulo limu okwewala okufikka era abakulu babasasuza Dirham 50 (ssente za United Arab Emirates) mu za Uganda 50,000/- ate abato Dirham 20 mu za Uganda gye mitwalo ebiri.

lEkizimbe kino kati kivuganya bulungi nnyo n’ebifo ebibadde bimanyiddwa ennyo mu kukung’aanya abalambuzi naddala eddungu erimanyiddwa nga Arabian Desert erijjudde omusenyu ogwakola obusozi era ng’eno ne kkampuni ya gavumenti ekola ku by’obulambuzi eya Arabian Adventure gye yasalawo okuteeka emmotoka ezirambuza abantu; we zisimbula ne zibatwala mu bifo ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte