TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

By Eria Luyimbazi

Added 20th February 2019

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Lop1 703x422

Agambibwa okuwamba omwana ng'ali ku poliisi

OMUVUBUKA ateeze omwana abadde ava ku ssomero okudda ewaka n'amubuzaawo natandika okkubira abakulira essomero gy'asomera nga abasaba obukadde 10 okumuyimbula  wabula abadde akyalinda ssente zino poliisi n'emukwatira e Ndejje Lubugumu n’omwana

Rogers Galiwango  yagenze ku ssomero lya Green Care School erisangibwa e Matugga Kavule ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nga February 15 2019 n'alabiriza nga abaana baddayo ewaka n'awamba omwana Kevin  Ssessanga 5 n'abulawo naye.

Oluvanyuma lw’okuwamba omwana Galiwango ku Lwomukaaga yatandikiddewo okukubira abakulira essomero lya Green Care School nga abasaba okumuwa obukadde 10 okusobola okumuyimbula nga bwe banalemererwa  wakumutta abasulire omulambo.

Roy Nabweteme maama wa Ssessanga yagambye nti okumanya nti yali abuziddwawo mukuluwe bwe baali bava ku somero yamutuukako ewaka nga akaaba  n'amutegeeza nga bwewaliwo omusajja atutte Ssessanga ku pikipiki ekyamuvirako okugenda ku ssomero nabategeza.

 

Amyuka Omwogezi wa poliisi Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire yagambye nti oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo eyawambye omwana eyabadde ava ku ssomero poliisi ng’eyita mu Flying Squad yatandikiddewo okunoonyereza nadala nga balondoola namba y’esimu obwedda ekubirwa ab’essomero nga basaba ssente .

Yagambye nti ku Lwokubiri mu kulondoola  simu abasirikale bakizudde nti yabadde ekozesa omulongooti oguli mu bitundu bye Ndejje Lubugumu  ne bagendayo ne bakwata Galiwango gwe basanze ng’omwana Ssessanga yabadde amukwese mu nnyumba okuva ku Lwokutaano lwe yamuwamba.

Oluvanyuma lw’okukwata Galiwango abasirikale bali mu kumubuza ekigendererwa kyeyabadde nakyo kuba talina kakwate kubazadde bw’omwana nga beba David Sittakange ne Roy Nabweteme.

Galiwango yaguddwako omusango gw’okuwamba omwana  oguli ku fayiro namba SD 07/15/02/2019  oluvanyuma omwana nadizzibwa bazadde be .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi