TOP

Kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2019

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Bim1 703x422

Bya ANNET NALUGWA

KKOOTI eragidde minisita Godfrey Kiwanda, Anne Mungoma n’ekitongole ekya Miss Curvy Uganda bateekemu empoza yaabwe mu buwandiike mu musango gw’okuwandiisa ab’obubina n’abaakula ffiga ennungi esikiriza omuntu okulabako mu ennaku 15 zokka nti singa balemererwa mu nnaku zino omusango guno kkooti ejja kuguwulira era bagusale nga tebawuliriziddwa.

Omulamuzi Alex Mushabe Karacho owa kkooti e Mengo yatadde omukono ku kiwandiiko kino era nalagira minisita Godfrey Kiwanda,, Anne Mungoma n’ekitongole ekya Miss Curvy Uganda okuteekamu empoza yaabwe.

Babawawaabidde ku Lwakusatu nga Febuary 13 omwaka guno kyokka omulamuzi ono ekiragiro nakiteekako omukono nga February 18 2019 nga kya kubalagira kwewozzaako mu buwandiike.

Kino kiddiridde  munnamateeka Gideon Tugume okuwawaabira minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda, Anne Mungoma n’ekitongole ekya Miss Curvy Uganda  ng’abavunaana kutyoboola bakyala. Omusango guno guli ku fayiro nnamba CS 78/2019.

Mu mpaaba empandiike yakulembezza Godfrey Kiwanda, Anne Mungoma n’ekitongole ekya Miss Curvy Uganda. Tugume asaba kkooti etangire Kiwanda okutegekera empaka zino mu kitundu kyonna eky’eggwanga lya Uganda. Empaaba eyongera n’etegeeza nti, empaka zino zigenderera kutyoboola bakyala, okubaswaza, n’okulinnyirira eddembe lyabwe.

Era agamba nti, ebintu bino Kiwanda by’akumamu omuliro tebikoma ku kutyoboola bakyala kyokka wabula birinnyirira n’ennono n’obuwangwa bwa Bannayuganda. Ekiwandiiko era kitegeeza nti, Kiwanda agwaana avunaanibwe ng’omuntu omu mu buwaayiro bwa Ssemateeka obwogera ku bugwenyufu n’abo ababuwagira. Yasabye kkooti eragire Kiwanda yeetondere eggwanga ng’ayita ku mikutu gy’amawulire.

Sayizi y’obubina obugenda okuvuganya bugenda kusinziira ku nkula naddala omukyala agyayo omulamwa gw’akabina akalina ‘curve’ oba akeewunda nga kajjudde ‘hips’ ate ogatteko okunyumira engoye n’amagezi g’olina kubanga wajja kubaawo okuddamu ebibuuzo. Empaka zino zisuubirwa okubaawo mu April wa 2019 ekibanyi kigwe n’amenvu.

Tugume azze awaaba ku nsonga ez’enjawulo kyokka emisango ne gizikirira awo. Yasembayo agezaako okuwaabira abaaziika omuli wa ssente, Ivan Ssemwanga nga mu ntaana bayiyeemu omudidi gw’ensimbi nti kwali kwonoona kyokka byakoma awo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte