TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka Allan Ssewanyana agguddwaako emisango ebiri

Omubaka Allan Ssewanyana agguddwaako emisango ebiri

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2019

Omubaka wa Makindye west, Allan Ssewanyana ayimbuddwa ku kakalu ka poliisi e Naggalama gy’amaze ebiro bibiri ng’aggaliddwa. Poliisi yamugguddeko emisango ebiri okuli; okukuma mu bantu omuliro n’okukuba olukuhhaana olutali mu mateeka.

Sewanyanangaafulumapoliisienaggalama 703x422

Ssewannyana ng'afuluma ekkomera e Naggalama: Ekif: AMON MUKASA

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti, Ssewanyana okuyimbulwa eggulo ku kakalu ka poliisi tekitegeeza kumuggyako misango wabula baakikoze kubanga essaawa 48 omusibe z’ateekeddwa okumala mu kaduukulu ka poliisi zaaweddeko eggulo.

“Tumuyimbudde ku kakalu ka poliisi, naye tekitegeeza nti takyalina musango, tusuubira okumutwala mu kkooti amangu ddala nga fayiro ye ewedde bulungi,” Onyango bwe yategeezezza.

Onyango yagambye nti, okulwawo okutwala omubaka Ssewanyana mu kkooti kyavudde ku kubeera nti baasoose ne baweereza fayiro ye ew’omuwaabi wa gavumenti kyokka n’agibaddiza ng’aliko ebintu ebikulu bye yabawabuddemu okugitereeza nga tebannamutwala mu kkooti.

Bbo abooluganda lwa Ssewanyana n’abawagizi be, eggulo bazzeemu okukonkomalira ku kkooti e Makindye gye baakedde nga basuubira poliisi okumutwalayo kyokka zzabadde ziwera ssaawa 8:00 ez’olweggulo ne bategeezebwa nti yabadde ayimbuddwa ku kakalu ka poliisi.

Ssewanyana yategeezezza amangu ddala nga yaakayimbulwa nti, eky’okumusiba tekigenda kumuggya ku mulamwa gw’aliko ogw’okwogera ku bintu by’alowooza nti by’ebiruma abantu b’akiikirira mu palamenti.

Ssewanyana yakwatibwa poliisi ku Mmande bwe yagenda ku ddwaaliro ly’e Kiruddu n’agezaako okulisibako kkufulu ng’agamba nti, embeera gye lirimu egenda kulwaza abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...