TOP

Omugagga asenze ebintu bya Klezia

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2019

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe, balaze obutali bumativu olw’omugagga Charles Lwanga eyakkakkanye ku mmere yaabwe n’agisenda ne tulakita bwe yabadde ayerula empenda z’ettaka ly’agamba nti lirye.

Gano 703x422

Abatuuze mu luguudo olwayise mu bibanja byabwe. Mu katono ye Fr. Tamale

Ssentebe w’ekyalo, Joseph Kkonde agamba nti, abatuuze abaakoseddwa kuliko abatuuze abasoba mu 20, ababiikira ab’ettendekero erisomesa abasomesa erya Sancta Maria Primary Teachers College, Klezia n’essomero lya Nkakwa Community P/S.

Kkonde yategeezezza nti ettaka lino lizze libeerako embiranye ng’era bangi ku bbo nga naye kw’omutwalidde bazze basibwa mu kkomera olw’ettaka lino.

Ebintu ebyayonooneddwa kuliko; muwogo, ebitooke, bbogoya, Cocoa n’emiti nga bino byayonooneddwa ewatali kubaliyirira.

Willy Ssenyonga omu ku batuuze abalina ekibanja ku ttaka lino agamba nti, bbogoya we, olusuku lw'amatooke n'ebintu ebirala byasendeddwa.

Yayongeddeko nti, embeera eno yabanyize wadde tebeerwanyeeko kubanga abaasenze baabadde bakuumibwa poliisi ya Ssezibwa Region Police.

Omulangira Livingstone Kimeze akuuma olubiri lwa Ssekabaka Mawanda agamba nti, ettaka lino liwezaako mayiro nnamba ligambibwa nti, omugagga Lwanga yaligula.

Omubiikira Dr. Sr. Rita Nakitende akulira ettendekero lya Sancta Maria PTC agambye nti, balimidde ku ttaka lino okumala emyaka 20 n’okusoba era ekyakoleddwa kyabaddemu okujooga n'okubayisaamu amaaso.

Ate Rev. Fr. Lawrence Tamale atwala ekigo ky’e Nkokonjeru naye yalaze obwennyamivu olw’engeri Klezia n’essomero ebibadde biyamba abatuuze gye biri mu lusuubo olw’omugagga eyeesomye okwagala okubiggyawo.

Fr. Tamale agamba nti nga Klezia balina ebiwandiiko ebyogera ku ttaka lino era Lwanga yandisoose kubatuukirira n’amanya ekituufu.

Kyokka Lwanga bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti, yeewuunya bannaddiini okuli Sr. Nakitende ne Fr. Tamale okukweka amazima ng’ekituufu bakimanyi.

Lwanga yagambye nti ye talina mmere ya babiikira gye yasenze ate n’okugamba nti tebaamanya ku kya kwerula mpenda kikyamu kuba baawandiikira ofiisi ya RDC ne bagitegeeza ku nsonga eno.

Lwanga yannyonnyodde nti essomero lyazimbibwa ku ttaka lye era n’asaba Fr. Tamale okumulaga ettaka eddala erya Klezia abazimbireko essomero ensonga zive mu ddiiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte