TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalimira ku ttaka lya Mpanga Forest Reserve bakwatiddwa ne baggalirwa

Abalimira ku ttaka lya Mpanga Forest Reserve bakwatiddwa ne baggalirwa

By Paddy Bukenya

Added 21st February 2019

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA) bakutte abantu mukaaga abaasangiddwa nga balima mu kibira kya Mpanga Forest Reserve mu Mpigi Town Council ne baggalirwa lwa kusaanyawo kibira nga kino kye kibadde kisigaddewo mu Mpigi, Butambala ne Gomba.

Mate 703x422

Abakwate nga bali ku poliisi e Mpigi.

Abakwate kuliko Leonald Ssekitoleko 70, Robert Kimbuseeko 35, Muhamad Sserule 58, Emmanuel Sseruga 29, nga bonna batuuze b’e Nseke ne Night Namusoke 40, ne Prossy Nakubulwa 27, nga bano b’e Mpambire nga bonna baakwatiddwa lubona nga balima mu kibira Mpanga ku kyalo Nseke.

Okusinziira ku avunaanyizibwa ku bibira mu kitundu kino, Hope Twikiriza, agamba nti abakwate babadde baasaanyizzaawo ekitundu ky’ekibira kino n’ettundutundu ly’olutobazzi olusemberedde ekibira nga beekweka mu kusimba emiti gya kalittunsi.

Yagambye nti abadde amaze ebbanga ng’alinnya akagere abantu bano kyokka nga bwe bagendayo okubakwata nga badduka ekimuwalirizza okukola ekikwekweto ne poliisi.

Abaakwatiddwa bakira balumiriza abakungu ba NFA okutunda ekibira ng’ekiguza abagagga ne basimba emiti gya kalittunsi nga bano be baawbaadde olukusa okulima mu kalitunsi waabwe emmere y’okulya okutuusa nga kalitunsi akuze.

Akulira poliisi ye Mpigi, Erias Twesigye yagambye nti abakwate baaguddwaako omusango gw’okusanyawo ekibira kya gavumenti ku fayiro nnamba SD; 51/18/02/19 era baakutwalibwa mu kooti bavunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi