TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulamuzi yeesitudde n'alambula ettaka eririko enkaayana e Kasanje - Masaka

Omulamuzi yeesitudde n'alambula ettaka eririko enkaayana e Kasanje - Masaka

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2019

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga mu Masaka ku ttaka erigambibwa okulekebwawo Abayindi nga kuno kuliko abatuuze abasoba mu 500 abaawawaabirwa olwokwesenza ku ttaka lino mu bukyamu era omulamuzi n’awa olunaku lw’okusalirako omusango guno ogumaze emyaka mwenda mu kkooti.

Pata 703x422

Omulamuzi Ssejjemba (mu maaso) ng’akulembeddemu abatuuze okulambula ettaka.

Abatuuze beesunze olutuula lwa kkooti luno nga baatuuse ku St. Anthony Primary School ku ssaawa 1.00 kyokka we zaaweredde essaawa omunaana nga talabikako abamu amaanyi ne gabaggwaamu ne bagenda.

Omulamuzi oluvannyuma yatuuse ku ssaawa 9.00 ng’awerekerwako poliisi era bwe yamaze okwanjula ensonga, Joseph Bukenya agamba nti ye nnannyini ttaka lino olw’obuyinza obwamuweebwa Abayindi abaali bannannyini lyo yamukulembeddemu wamu n’abatuuze ne bamulambuza ekitundu ku ttaka lino eriweza yiika 324 ekyasengako abantu.

Wakati mu kulambula, abatuuze baavudde mu mbeera ne boogerera Bukenya ebisongovu oluvannyuma lw’okutankana ensalo z’ettaka ne bategeeza omulamuzi nti ekitundu Bukenya kye yabadde amulaga kiri ku ttaka lya Kabaka.

Omulamuzi yabakkakkanyizza okulambula ne kugenda mu maaso.

Oluvannyuma omulamuzi yayise abawawaabirwa bonna n’abasoya ebibuuzo okusinziira ku bye yabadde azudde mu kulambula kyokka ekyaggye abatuuze mu mbeera kwe kubeera nga Bukenya yawaabira n’abantu abatali ku ttaka lyogerwako okuli Mudashir Bbaale Sipiika w’eggombolola ne Lwanga Munyweza ab’oku kyalo Lwemodde.

Bukenya naye yabuuziddwa oba tasobola kukkaanya na basenze n’agamba nti ekyo tekikyasoboka.

Ono era yabuuziddwa ku kiki ky’alaba ekisaana okukolera abatuuze bano n’ategeeza nti gavumenti ebafunire w’ebateeka ye akozese ettaka lye.

Omulamuzi yakkaanyizza ne balooya b’enjuyi zombi n’alaga olwa nga April 15, 2019, okuwa ensala ye ku musango guno ogubadde mu kkooti okumala emyaka kkumiokuva mu 2009.

Abatuuze baasanyukidde Omulamuzi okutuuka ku ttaka lino ne bagamba nti kigenda kuggyawo obulimba obubadde buweebwa Bukenya mu kkooti nti ku ttaka lino tekuli maka g’abatuuze na bintu bya mugaso.

Baasabye n’abalamuzi abalala bakozese enkola eno okusobola okutaasa abantu abagobwa ku ttaka mu bukyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte