TOP

Boogedde ebinobya bakazi ba Ssegawa

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2019

ABAALI bakazi ba Vincent Ssegawa bamulangidde bw’atalisobola kuwasa mukazi n’amugumiikiriza kubanga alina obuzibu bw’obuteebaka.

Mbabazi 703x422

Ku ddyo ye Ssegawa n'omugole Mbabazi eyamudduseeko

Asula agugumuka ogenda okulaba ng’atambudde agenze ate takubuulirayo. Ne bw’oba olina ky’omugamba ekiro ogenda okukubaakuba we yeebase nga taliiwo.

Ate oba oli awo ogenda okulaba nga bukya ng’akomawo olwo n’atandika okwogera bino na biri.

Jamirah Namatovu abeera e Najjeera mu disitulikiti y’e Wakiso ng’ono ye yali mukyala wa Ssegawa gwe yasembayo okuwasa alyoke agende mu banoonya mwe yakung’aanyiza abakazi 50 mwe yalonda Prossy Mbabazi gwe yayawukanye naye nga bamaze ennaku nga 40 zokka yategeezezza Bukedde eggulo nti Ssegawa tagumiikirizika.

Nti teyazaala wa Ssegawa wadde baali bamaze ebbanga kubanga omusajja oyo teyalina budde buzaala olw’okwebaka awaka ekitono.

Ate ng’oggyeeko obutabeera na budde bwa kuzaala, alina n’ebizibu bye yazuula n’asalawo obutamuzaalamu mwana n’amuleka n’afumbirwa awalala.

Namatovu yafumbirwa Najjeera era yasabye Bukedde aleke kussa kifaananyi kye mu mawulire kubanga bba gw’alina kati teyandiyagadde kumulabisa ng’enjogera y’ennaku zino bweri.

Nti yakoowa Ssegawa olw’okuzaalanga ebbali n’amuleetera abaana ye n’alabirira era nga we baayawukanira baali mukaaga.

.................................................................................................................................

Ssegawa gwe yalonda mu bakazi 50 amudduseeko

.............................................................................................................................

Baali babeera Nansana gye yamuleka olw’okumukoleranga guno na guli naye nga talina ky’amuwa kubanga mukopi; era yamusabanga bazimbe ennyumba n’agaana nga yewuunya ne ssente z’akola gy’azissa.

Nga tebannaawukana, Namatovu agamba nti baakaayana ng’asaba Ssegawa nti oba agaanye bazimbe ennyumba, akkirize okuzimba eya bakadde be abaamukuza naye nakyo kyabayombyanga.

Agamba nti Ssegawa yasalawo okunoonya omukazi omulala amulumye (Namatovu) naye era ye yakimanya nti ne bw’alibeera afunye talibeera naye kubanga Ssegawa tasoboka mu basajja be yaakalaba mu bulamu.

“Oyo asaana erinnya lya ‘busajja-bwankuba’ kuba kazibu ak’olugezigezi, akajoozi,” bw’atyo Namatovu bwe yawunzise emboozi y’eyali bba.

Mukyala wa Ssegawa omulala Shamim Nabakooza ow’e Mukono agamba nti Ssegawa yamusuulira n’omwana gwe yamuzaalamu bwe yafuna obusungu ng’amubuuza lwaki alina abakazi abalala ng’ate ye yasalawo okumwekuumira.

Yagambye nti ku lunaku olw’ekivvulu kya Ssegawa ekya Ssappule Muzambulemu, baalwanira e Mukono ku Satellite beach era okuva olwo tebaddamu kukolagana.

Omulala eyakazibwako erya Maama Ian olw’omwana wa Ssegawa nga naye baayawukana n’afumbirwa e Wakiso, yategeezezza Bukedde nti okufumbirwa Ssegawa weetaaga weesibe bbiri kubanga mujoozi nnyo.

Ssegawa yayawukanye ne Mbabazi gwe yafunira mu lwokaano lw’abakazi 50 be yakung’aanyiza ku wooteeri ya HollyFam e Nansana ng’ayambibwako omuyimbi Annet Nandujja ne bamulonda olw’okuyita obulungi ebigezo.

Wabula bakadde ba Mbabazi baamumuggyeeyo nga baagala Ssegawa asooke alage nti ali siriyaasi ng’amwanjula bamumuwe mu butongole, Ssegawa kye yagambye nti talina ssente wabula n’akawang’amula bwe yagambye nti agenda kulonda mu bawala abagenda okuvuganya mu mpaka z’aboobubina eziwagirwa Minisita Kiwanda eza Miss Curvy Uganda.

Ng’ayawukanye ne Namatovu omwaka oguwedde alyoke afune Mbabazi, Ssegawa yategeeza Bukedde nti abakyala be yayawukana nabo tekuli ayinza kumwogerako bulungi olw’ensaalwa gye baamufunako ng’afunye ekimyula.

Yategeezezza nti ye musajja eyeekolera n’alabirira abaana be ate talina kitambo nga bwe boogera okwagala okumwonoona.

Era nti Namatovu tewali kalungi k’ayinza ku mwogerako kubanga ayagala kutabangula mugole we Mbabazi

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte