TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze engeri butto w'obusigo bw'amapaapaali gy'akola ku maaso n'embuto ez'esiba

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze engeri butto w'obusigo bw'amapaapaali gy'akola ku maaso n'embuto ez'esiba

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2019

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze engeri butto w'obusigo bw'amapaapaali gy'akola ku maaso n'embuto ez'esiba

Kab2 703x422

Obusigo bw’amapaapaali obuvaamu butto, wansi nga bw’afaanana.

WIIKI ewedde nakulaze ebintu eby’enjawulo by’osobola okukola mu bikoola by’amapaapaali. Wabula emigaso gy’amapaapaali tegikoma ku bikoola naye n’obusigo nabwo bwa mugaso eri obulamu bwo newankubadde ng’abamu babubuusa amaaso.

Jjukira nti eppaapaali kimu ku bibala ebisinga okuwooma era Christopher Columbus bwe yali akinoonyerezaako yakiyita ‘malayika w'oku nsi’ kubanga mu bibala bye yazuula yaliraba nga lya njawulo.

Mu ssaayansi baliyita ‘Karika pawpaw’ era wano we wava erinnya lyago egganzi erya ‘pawpaw’. Bw’owulira ayogera erinnya eryo mwattu tobula aba ayogera ku ppaapaali. Obusigo obwo bw’osuula ka nkulage emigaso gyabwo ssinga obeera obukamuddemu butto.

1 Butto ono, ayamba okugonza ennyama. Waliwo ensobi ekolebwa abatambuza ente abazitulugunya ne kizireetera okusiba ennyama, kati abantu bagenda okugirya nga yakapye n’ebasiba embuto.

Kyokka bw’onywa butto ono akuyamba okugonza olubuto. Era ayamba omuntu obutafuna mmeeme eya wansi. Obuteesiba lubuto omuteeka ku mazzi agabuguma, era abantu abatalya mmere erimu kiriisa ekizimba omubiri tebasobola kubikubaakuba ky’ova owulira nti gundi tanywa mata, talya nnyama n’ebirala, naye butto w’amapaapaali amalawo embeera eno.

2 Alimu ekirungo ekyoza omusaayi ate alimu ne Vitamiini C ayamba okukuuma omubiri nga tegulwalalwala ne bw’oba tolidde ppaapaali lyennyini.

3 Abantu abalina amasavu mu misuwa abakolera bulungi, kino kikuuma omutima nga mulamu.

4 Butto ono era ayamba okutangira kookolo w’ekyenda, kubanga bw’aggyawo olubuto okwesiba n’alwoza tewabaawo mmere esobola kwesibira mu kyenda ekiyamba ekyenda obutavundiramu mmere na kusomba ndwadde.

5 Ayamba okugoba enkanyanya n’okugonza enviiri n’okumalawo situka. 6 Akkakkanya akalulwe akazimbye kubanga akooza.

7 Abalumwa amaaso naddala abo abatuula ku kompyuta ekiseera ekiwanvu abakolera n’ababeera ku mataala agaaka ennyo n’abayamba obutalumwa maaso.

8 Akola ku musujja n’amabwa. Omuntu afumba emmere kirungi n’omuteerawo abantu bo oba bakasitoma ne bamukozesa kuba ajjudde emigaso ntoko.

Okumanya ebisingawo, tuukirira: Prof Bioresearch ku 0779-519652 / 0702-061652 oba kyalira edduuka lyaffe ku Bombo Road mu Kampala ku Equatorial Mall, Level 2, Edduuka nnamba 152, Email: profbioresearch@gmail.com

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte