TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Ssaabayaga El Chapo afunye essuubi ly'okuteebwa

Ssaabayaga El Chapo afunye essuubi ly'okuteebwa

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd February 2019

SSAABAYAGA wa Mexico ow’omutawaana eyasingisiddwa emisango mu kkooti y’e New York mu Amerika nga kati alindiridde ekibonerezo eky’okusibwa obulamu bwe bwonna afunye essuubi okuyimbulwa!

Gaba 703x422

El Chapo ng'akwatiddwa abakuumaddembe

Balooya be bategeezezza nti, bafunye obujulizi obulungi kwe bagenda okwesigama okujulira.

Bino biddiridde kkooti mu kibuga New York mu Amerika nga February 12, 2019 okusingisa Sssaabayaga era bifeekeera Joaquín Archivaldo Guzmán Loera El Chapo emisango 10 okuli egy’okukusa enjaga, ettemu n’emirala gy’abadde awerennemba nagyo okuva mu January 2017.

Ssaabayaga, Guzmán 6i, eyakazibwako erya 'El Chapo' nga nzaalwa y’e Mexico ye yali akulira ekibinja ky’abayaga ekisinga obunene n’omutawaana mu Mexico ekiyitibwa ‘Sinaloa Cartel’ kyokka yakwatibwa omulundi ogwokusatu mu January 2016, Gavumenti ya Mexico n’esalawo okumuwaayo eri Gavumenti ya Amerika eyali emaze emyaka nga kkumi ng'emuyisizzaako ebbaluwa bakuntumye ezisoba mu 60.

Guzman nga ye musajja abadde atunda enjaga n’okukola ebikolobero mu Mexico, yakwasibwa Gavumenti ya Amerika mu January 2017 n’asimbibwa mu kkooti mu New York gye yaggulwako emisango 17 oluvannyuma egyakendeezebwa ne gifuuka 10 era gyonna kkumi gyamusse mu vvi ku Lwokubiri Ebyobuggagga bya Guzman bibalirirwamu doola obuwumbi 14 (eza Uganda obuwumbi 50,400) okusinziira ku katabo ka Forbes Magazine akasengeka abagagga mu nsi yonna nga mu Mexico akwata ekifo kya kkumi mu bagagga.

Wabula balooya ba El Chapo baategeezezza nti tebinnaggwa kubanga bafunye obujulizi obulungi kwe basobola okusinziira okumatiza kkooti ejulirirwa okwejjeereza omuntu waabwe.

Omu ku balooya ba El Chapo, Jeffrey Lichtman yategeezezza nti bafunye obujulizi obulaga nti mu kusingisa El Chapo omusango, abantu 12 abeekenneenyezza obujulizi mu misango ne basemba nti emisango gyonna Ssaabayaga gyamusse mu vvi, baamenya ebiragiro omulamuzi mu musango guno Brian Cogan bye yali yabawa okugoberera.

Kino, balooya ba El Chapo baagambye nti kimala okusazzaamu ekyasaliddwaawo kkooti okusingisa El Chapo omusango kubanga kiraga nti amateeka agaalina okugobererwa mu nsala y’omusango gaamenyebwa.

El Chapo mu kiseera kino aggaliddwa mu kkomera ly’omu New York nga bw’alindiridde ekibonerezo ekigenda okumuweebwa .

YATOLOKA EMIRUNDI ESATU

Nga tannakwatibwa kutwalibwa mu Amerika gye baamuwozeserezza, El Chapo yali yaakatoloka mu kkomera emirundi esatu.

Yasooka kutoloka mu July 2015, bwe yali yaakamala mu kkomera, emyezi 17 okuva lwe yakwatibwa.

Yaddamu okutoloka mu February 2014, mu ngeri ewuniikiriza, n’aswazaswaza Gavumenti ya Pulezidenti Enrique Peña Nieto eyali yeewaana ng’olutalo ku bayaga bw’alulinnyeeko.

Guzman yaddamu okukwatibwa mu January 2016 n’azzibwa mu kkomero lye limu mwe yatoloka wabula gavumenti ya Mexico yasalawo okumutikka okumuweereza mu Amerika nga bw’ebadde enkola ku bayaga abasinga omutawaana kubanga enjaga yaabwe basinga kugitunda mu Amerika.

Amerika yali yamuyissaako dda ebbaluwa bakuntumye ezisoba mu 60 ng’ezimu ziva mu kkooti ez’enjawulo mu Amerika gye yassibwako ssente obukadde butaano obwa doola (eza Uganda obuwumbi 16) eri eyo anaayamba okumukwata.

Ssaabayaga ono yali yasooka okukwatibwa mu 1993, n’aggalira mu kkomera kyokka n’agulirira abakuumi n’atoloka mu 2001 n’addamu okuzinya oluguje Gavumenti ya Mexico ebiseera ebyo nga Pulezidenti Felipe Calderon y’ali mu buyinza.

Gavumenti yamuyigga okumala emyaka 12 okutuusa lwe yagombebwamu obwala omulundi ogwokubiri nga February 22, 2014 ne bamuggalira mu kkomera lya Altiplano kyokka n’atoloka bwe baamukweka mu kibookisi omussibwa engoye ezidduggala.

Guzman mufumbo mukyala we ye Emma Coronel Aispur gwe yawasa mu 2007. Guzman alina abaana 13 mu bakazi ab'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.