TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi 5 bagudde mu nnyanja

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi 5 bagudde mu nnyanja

By Muwanga Kakooza

Added 23rd February 2019

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu gyabwe mu ttumbi bwe lyebbise mu nnyanja Nalubaale.

Letter002pix 703x422

Ekifaananyi kiggyiddwa ku mukutu gwa Daily Monitor

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu gyabwe  mu ttumbi bwe lyebbise mu nnyanja Nalubaale.

Bino bibadde  mu bwengula bw’ennyanja Nalubaale ku ssaawa 9:00 (mwenda ez’ekiro) abaserikale ba poliisi erawuna amazzi bwe baaguddemu olw’embeera y’obudde etabangudde ennyanja kyokka ne bakozesa obukugu  ne bawugira  essaawa bbiri nnamba ne batuuka ku lukalu ne bawonya obulamu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango yagambye nti akabenje kituufu kaabaddewo okumpi n'omwalo gw’e Katosi mu Kyaggwe eryato bwe lyefudde olw'enkuba eyabadde efukumuka.

Abaaguddemu kuliko; Stella Akello, Gerald Mageno, Ceasar Okolle, Godwin  Oplot ne Innocent Oluke.

Wabula we baatuukidde ku lukalu ng’abasatu amaanyi gabawedde olw’embeera y’obukoowu n’obunnyogovu eyabaddewo era baatwaliddwa mu  ddwaaliro e Kiruddu mu Kampala kyokka nga babadde tebannasibulwa.

Tujja kukutuusaako ebisingawo ku ggulire lino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu