TOP

Abadde yaakayimbulwa bamuttidde mu bubbi

By Moses Lemisa

Added 23rd February 2019

OMU ku bamenyi b’amateeka aboolulango mu Kawempe abadde yakaligibwa emyaka esatu mu kkomera e Luzira oluyimbuddwa n’atandikira we yakoma ne bamukuba amasasi agaamusse bwe yabadde agenze ne banne mu maka agamu e Kansanga okubba.

Maaso 703x422

Mubiru abadde amanyiddwa nga Juma Nature eyattiddwa.

Juma Mubiru amanyiddwa nga Juma Nature ow’e Kawempe abadde amanyikiddwa nnyo mu bitundu by’e Kyebando, Kanyanya, Mpereerwe, Kaleerwe ne Mulago yakwatibwa poliisi y’oku Kaleerwe eyali ekulirwa Dan Ampadde mu 2015 ku misango egitali gimu okuli ogw’okukuba abantu ekiro.

Mubiru yakwatibwa n’omuvubuka amanyiddwa nga Hamza Dog ng’ono omulamuzi yamusalira emyaka 10 ng’ali Luzira oluvannyuma lwa Walakira ow’omu muluka gwa Makerere III e Kawempe okumuwaako obujulizi nga bwe yamutungulamu eriiso ate Mubiru baamusalira emyaka esatu nga yagimazeeko nga January 28 omwaka guno n’ayimbulwa era yatuukidde ku Kaleerwe mu Ddobi zooni mw’abadde asula.

Kigambibwa nti ddiiru y’okubba e Kansanga Mubiru yagifunira mu kkomera ng’era abamu ku baayimbuddwa naye be baagimubalira okutuusa mu kiro ekyakeesezza ku Ssande bwe baakwataganye ne balumba amaka agamu e Kansanga ng’eno abakuumaddembe gye baamukubidde amasasi mu magulu bwe yabadde agezaako okudduka abatuuze ne bamumaliriza.

Yagasseeko nti baabadde mukaaga abalala ne badduka.

Mubiru abadde amanyiddwa nnyo ku poliisi z’omu Kawempe nga mu kukuba abaserikale abadde akwata kisooka. Baamuziise ku Mmande ku kyalo Kisamula e Mityana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.