TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Uhuru yeevuze mu mmotoka ebitaala ne bimusiba

Uhuru yeevuze mu mmotoka ebitaala ne bimusiba

By Musasi wa Bukedde

Added 26th February 2019

PULEZIDENTI Uhuru Kenyatta acamudde Bannakenya bwe yebbye ku bakuumi be ne yeevuga yekka mu mmotoka eriko nnamba za bulijjo ne yeetoolola ku nguudo ez’omu kibuga Nairobi nga bakira ayimirira ne ku bitaala n’agumiikiriza nga ba ddereeva abalala.

Untitled1 703x422

Uhuru nga yeevuga mu mmotoka mu kibuga Nairobi

Kino Pulezidenti Kenyatta yakikoze ku Ssande mu ssaawa nga 11:00 ez’akawungeezi bwe yeevuze mu mmotoka ey’ekika kya Mercedes G-Wagon eyabaddeko ennamba za bulijjo ne yeetooloola mu nguudo ez’enjawulo mu kibuga Nairobi nga talina bukuumi bwonna.

Ku ssaawa nga zigenda mu 12:00 ez’akawungeezi, Kenyatta yalabiddwaako ku bitaala ng’assizza ku ndabirwamu ey’omu maaso ey’emmotoka gye yabadde avuga n’ayogera n’omukazi ateeberezebwa okubeera masiikiini.

Ebitaala bwe byatadde, Kenyatta yavuze emmotoka n’ayolokera ekifo ekiyitibwa Masai Lodge era kigambibwa nti awo mmotoka ez’Obwapulezidenti n’abakuumi be we baamusanze ng’ali ku kulya ennyama enjokye eyitibwa Nyama choma n’akawunga (Ugali).

Guno mulundi gwakubiri nga Pulezidenti Kenyatta yeemulula ku bakuumi ng’ogwasooka gwabadde nga January 19, 2019, Uhuru bwe yebbye ku bakuumi be n’agenda ne Raila Odinga babiri bokka mu mmotoka ey’ekika kya Prado ne balambula omwalo gw’e Kisumu gye baasanga ne Munnayuganda Mike Mukula ne beevumba akafubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam