TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Babakutte banoonya omwana omuwere ow'okugula ku bukadde 9

Babakutte banoonya omwana omuwere ow'okugula ku bukadde 9

By Lawrence Kitatta

Added 27th February 2019

POLIISI ekutte abakazi basatu e Kigo ku bigambibwa nti baabadde banoonya mwana omuwere ow’okugula.

Manya 703x422

Nalwasa (ku kkono) ne munne bwe baabakutte.

Abasatu bano bakuumirwa ku poliisi y’e Kajjansi nga kuliko Esther Stella Nalwasa omusuubuzi e Masaka , Grace Nakazibwe ne Hasifah Tebasuulwa nga bonna b’e Masaka.

Bano we baabakwatidde baabadde mu mmotoka Premio UBD 912A era baabadde bagenze Kigo okusisinkana omuvubuka Abdu Miiro gwe bagamba nti gwe baabadde bakolaganye naye okubayambako okukutula ddiiru eno wabula n’abayitamu nabawaayo eri poliisi.

Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yategeezezza Bukedde ku Lwokubiri nti abakyala bano bakyali mu mukono gya poliisi era nga bambega baayo bakyagenda mu maaso n’okubakunya okusobola okubaggyamu ebisingako.

Yayongeddeko nti ekirala poliisi ky’ezudde abakyala bano guno gwandiba nga gwe mulimu gwe bakola nga kirabika baguluddemu kuba buli muntu y’ebuuza obuvumu gye baabuggye okusasula obukadde mwenda bafune omwana ate nga Nalwasa agamba nti yabadde agula mwana amutwalire omusiguze alina abaana bataano balamba.

EMUKUNYIZZA N’ATEMA EMIRANGA

Wakati mu maziga Nalwasa yategeeszezza poliisi nti mukyala mufumbo ne bba Semanda era mugagga alina ssente naye eby’ekisenge byali tebitambula bulungi n’asalawo afuneyo omusajja omulala agire ng’amumalako ennyonta ate n’amwagala ekisusse.

Yategeezezza poliisi nti aludde ne bba ng’amulinamu abaana bataano wabula ng’omusiguze gwabadde tayogera mannya amulemerako amuzaalireyo omwana.

Bwe yanyumirizzaako mikwano gye be yakwatiddwa nabo ne bamuwa amagezi nti asobola okufuna omwana ng’aguze mugule okuva ku muntu.

Nalwasa agamba nti mukwano gwe ye yamufunira Miiro ow’e Mutungo- Kigo era n’amukakasa nga bw’asobola okumufunira omuwala eyaakazaala oba omuwala ali olubuto wabula ng’omwana tamwagala amusasulemu obukadde mwenda ye amuwe omwana amutwalire muganzi we.

Nalwasa yagambye nti olw’obutayagala kufiirwa musajja kwe kusalawo anoonye omwana amugule.

Wabula yabadde akyagenda mumaaso n’okunnyonnyola omuserikale kwe kumutegeeza nti ‘mu kiseera kino mwenna muli bakwate mubadde mwagala kubba mwana.”

Onyango yategeezezza nti Nalwasa ne banne ababiri bagguddwaako omusango gw’okwagala okugula omuntu n’ekigendererwa ekitannaba kutegeerekera wabula nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okubanoonyerezaako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.