TOP

Ebya S6 bifuluma leero

By Ahmed Mukiibi

Added 28th February 2019

EBYAVA mu bigezo bya Siniya eyoomukaaga ebifulimizibwa olwaleero biraga ng’abayizi baabikoze bulungiko.

Odonguace 703x422

Dan Odongo akulira ekitongole ky'ebigezo.

Minisita omubeezi ow’amatendekero aga waggulu, Dr. J C Muyingo y’agenda okufulumya ebyava mu bigezo ku lwa Minisita w’Ebyenjigiriza, Muky. Janet Kataha Museveni ali ebweru w’eggwanga ku mirimu emitongole.

Dr. Muyingo yategeezezza nti agenda kufulumya ebyava mu bigezo ku ssaawa 5:00 ez’oku makya n’oluvannyuma abakulira amasomero bakwasibwe eby’amasomero gaabwe ku kitebe kya UNEB e Ntinda Abayizi 99,672 be baatudde ebigezo bino ebya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu masomero 2,217 wakati wa November 12 ne December 4, 2018.

Omuwendo gw’abayizi abaatudde ebya S6 omwaka 2018 gwabadde wansi bw'ogeraageranya ku bayizi 102,007 abaatuula ebya UACE mu 2017, ekitegeeza nti omuwendo gw’abatudde ebya S6 mu 2018 gwakendedde abayizi 2,335 bw'ogeraageranya n’abaabituula mu 2017 Ku bayizi 99,672 abaatudde ebya S6 mu 2018, kuliko abalenzi 58,359 ate abasigadde 41,313 bawala.

Ku bayizi abo 18,550 (abalenzi 12,577 n’abawala 5,973) ababadde baweererwa Gavumenti ku bwereere ate abasigadde 81,122 (abalenzi 45,782 n’abawala 35,340) babadde basomera mu masomero ag’obwannannyini.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.