TOP

Awamba abawala bamuvunaanye

By Musasi wa Bukedde

Added 28th February 2019

Omuvubuka agambibwa okuwamba abawala n’abatta asimbiddwa mu kkooti e Wakiso n’avunaanibwa omusango gw’okutta omwana.

Kabaate1 703x422

Om userikale w’amakomera ng’asiba empingu ku Mukisa oluvannyuma lw’okumusindika mu kkomera.

Deo Mukisa Makumbi oluusi nga yeeyita Dennis Kabanda ye yasimbiddwa mu kkooti e Wakiso n’avunaanibwa okutta omwana Elvis Kibuule eyali owa muganzi we Zibra Namusoke naye gwe yatta omulambo n’aguziika.

Omulamuzi wa kkooti e Wakiso, Doreen Kalungi yasomedde Mukisa omusango gw’okutta omwana Kibuule nga kino yakikola wakati wa January 25, 2019 ne January 30, 2019 e Kireka Bbira mu Wakiso.

Mukisa omulamuzi Kalungi yamugaanyi okubaako ky’ayogera kuba omusango ogumuvunaanibwa gwa nnaggomola n’amusindika ku limanda mu kkomera e Kigo okutuusa nga March 20, 2019.

Mukisa yakwatibwa abajaasi aba CMI n’akkiriza okutta omwana Kibuule wamu ne nnyina Zibra Namusoke gwe yaziika e Masaka omulambo bwe gwazikulwa oluvannyuna lw’okusooka okubalimba nti yamuziika mu Lubigi.

Oluvannyuma lw’okumukwata poliisi yazuula ebifaananyi by’abawala ab’enjawulo mu nnyumba ya Mukisa n’abuuzibwa amayitire gaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu