TOP

Ababbisa kalifoomu mu takisi babakutte

By Moses Lemisa

Added 1st March 2019

ABA takisi abagambibwa okukuba omusuubuzi kalifoomu ne bamubbako ssente 4,500,000/- poliisi ebakutte ne berumiriza.

Pope 703x422

Takisi nnamba UBB 509M mwe bagambibwa okubbira. Mu katono, Ategeka (ku kkono) ne Muyimbwa nga bali ku poliisi.

Nga February 22, 2019, Alex Kyambadde omusuubuzi w’ente mu lufula y’oku Kaleerwe yalinnya takisi nnamba UBB 509M ku siteegi ya Kibe ku Kaleerwe ng’edda Busega gy’agamba nti mwe baamukubira kalifoomu oluvannyuma ne bamubba ssente 4,500,000/- ne badduka.

Yaggulawo omusango ku poliisi ya Kibe ku fayiro nnamba SD:25/22/02/2019.

Abaserikale baatandika omuyiggo okutuusa ku Lwokubiri bwe baagikwatidde mu kifo ky’ekimu Kyambadde we yagirinnyira.

Kondakita John Ategeka 23, ne Sulaiman Muyimbwa 27, ddereeva baakwatiddwa.

Kyambadde yategeezezza nti yali agenda Kasese kusuubula nte n’alinnya takisi edda e Busega yeeyongereyo.

Yagambye nti yali munda n’awulira ng’alina kammunguluze n’atakifaako wabula yafuluma atagala ng’omuntu atamidde wano we yategeerera nti bamubbye.

Olw’okuba yalimu akategeera yasobola okukwata nnamba puleeti n’agiwa poliisi. “Eyo takisi yennyini mwe mwali abanziba sirina kye mpaayiriza.

Njagala ssente zange kuba bankuba kalifoomu. Oyo omuvubuka omunene ye yali kondakita saagala yeegaane “ Kyambadde bwe yategeezezza.

Muyimbwa yategeezezza nti takisi eno yamukwasibwa taata we Yunusu Kasenge okugivuga wabula olunaku lwe baagamba nti babbiramu omusuubuzi yali agigabye kibaluwa era teyagirimu.

Yagasseeko nti ebbanga mmotoka ly’emaze ku luguudo lwa Northern tawulirangako nti yabbye abasaabaze nga kirabika Kyambadde alina ensonga ze ndala.

Ategeka yabyegaanye, wabula ng’aba takisi banne abakolera ku siteegi ya Kibe baategeezezza nti mmotoka eno nga bamaze okugiroopa nti yabbye omusaabaze ebadde teddanga ku siteegi okutuusa ku Lwokubiri lwe yakomyewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...