TOP

Aba URA bagguddwaakogwa kulya nguzi

By Edward Luyimbazi

Added 1st March 2019

ABAKOZI mu kitongole ky’omusolo ekya URA babiri abaakwatibwa akakiiko ka Lt.Col. Edith Nakalema akalwanyisa enguzi basimbiddwa mu kkooti ewozesa abakenuzi n’abalyake e Kololo ne baggulwako emisango gy’okulya enguzi ebiri.

Love 703x422

Wamala (ku kkono) ne Miiro nga batuusibwa ku kkooti.

Ferdinand Wamala 33, ow’e Kwata-Komamboga mu Munisipaali y’e Kawempe mu Kampala ne Hassan Miiro 29, omutuuze wa Spring Road mu Munisiapaali y’e Jinja be baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Pamela Lamunu Ocaya kyokka ne bagyegaana.

Okusinziira ku muwaabi wa Gavumenti, Alice Komuhangi, kigambibwa nti wakati wa September 2018 ne February 2019, Wamala ne Miiro nga basinziira mu ofiisi za URA e Jinja baakozesa olukujjukujju ne bafuna enguzi ya bukadde 50 okuva ku Abdunoor Benjamin Okumu nga zino zaali za kumukendeereza ku misolo.

Era abasajja be bamu baasomeddwa n’omusango omulala ogw’okukkiriza okufuna ssente ezisukka mu bukadde 44 okuva ku Okumu okumukendeereza ku misolo ng’ekikolwa kino baakikola nga February 19, 2019 nga baali ku Nile Anchor Palace.

Olwabasomedde emisango gino, omuwaabi wa Gavumenti Komuhangi yasabye kkooti okwongerayo okubasomera emisango gino n’agamba nti bakyalina okunoonyereza kwe bakola. Wabula omulamuzi yabategeezezza nti basobola okusaba okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti.

Miiro ng’ayita mu looya we John Patrick Barenzi yasabye okweyimirirwa n’ategeeza nga bw’amaze ennaku mwenda ng’akuumirwa mu kaduukulu ka poliisi, era ng’alina abaana babiri b’alina okulabirira.

Omulamuzi Lamunu yakkirizza Miiro okweyimirirwa ku bukadde 6 ez’obuliwo ate abaamweyimiridde n’abalagira okusasula obukadde 40 ezitali za buliwo.

Ye Wamala yabadde talina bamweyimirira n’amusindika ku limanda e Luzira okutuusa nga March 12,2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...