TOP

Rwanda eggaddewo ensalo zaayo eri Bannayuganda

By Musasi wa Bukedde

Added 1st March 2019

Rwanda eggaddewo ensalo zaayo eri Bannayuganda: Abantu ssekinnoomu n'ebyamaguzi bigaaniddwa okusala Katuna

Trucks1a703422 703x422

Rwanda eggaddewo ensalo zaayo eri Bannayuganda: Abantu ssekinnoomu n'ebyamaguzi bigaaniddwa okusala Katuna

Abagoba b'ebidduka okuli mmotoka z'ebyamaguzi ne bbaasi omuli abasaabaze  baalagiddwa obutettantala kusala nsalo kuyingira Rwanda ne bawalirizibwa okupaakinga mmotoka ku mabbali g'ekkubo okumpi n'ensalo wadde nga babadde bamaze okukkirizibwa abakungu ba Immigrations ku ludda lwa Uganda.

Okusinziira ku Sam Serwanga Bunkeddeko, ssentebe w'ekibiina ky'abayingiza ebyamaguzi ku nsalo , obweraliikiriza bubaddewo okumala wiiki bbiri ebyamaguzi okuli seminti wa Hima n'ebyamaguzi bya Mukwano wamu ne Roofings bwe byagaaniddwa okuyingira ensalo ya Rwanda.

“Abaabadde mu bbaasi baatutegeezezza nti abasaabaze abalina endamuntu za Rwanda nabo baagaaniddwa okusala ensalo okuyingira Uganda kyokka ab'amawanga amalala okuli Congo, Burundi bakkiiriziddwa okusala ensalo.

Abamu ku baddereeva baategeezezza nti abakungu ba Rwanda Immigration ku nsalo y'e Katuna baaganye okubannyonnyola ekigenda mu maaso na lwaki mmotoka eziva e Uganda wamu n'ebyamaguzi byagaaniddwa okuyingira Rwanda!

 

  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam