TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Azadde ow'ekizimba ku mutwe ab'oluganda bamulagidde amusuule

Azadde ow'ekizimba ku mutwe ab'oluganda bamulagidde amusuule

By Henry Nsubuga

Added 3rd March 2019

Azadde ow'ekizimba ku mutwe ab'oluganda bamulagidde amusuule

Muk2 703x422

Omukyala nga'li n'omwana we gw'azadde ng'ali ekizimba ku mutwe

OMUKAZI yeekubidde enduulu eri abazirakisa ng’ayagala bamutaase ku mbeera emusobedde oluvannyuma lw’okuzaala omwana ng’alina ekizimba ku mutwe nga kisinga n’omutwe gw’omwana obunene.

Rebecca Nanjule (34) omutuuze w’e Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono y’asangiddwa mu ddwaliro ly’a St. Francis e Naggalama ng’ali mu maziga obw’emirundi ebiri okuli eky’okuba ng’omwanawe ali mu bulumi bwamaanyi, ng’ensimbi ezisasula mu ddwaliro aveeyo zimubuze ate nga n’ab’oluganda lwe abandimudduukiridde bamulagidde asooke kusuula mwana balyoke bamuwe ssente.

 mwana nga bwafaanana oliuvannyuma lwokuzaalibwa nekizimba ku mutwe Omwana nga bw'afaanana oliuvannyuma lw'okuzaalibwa n'ekizimba ku mutwe

Wabula ye ekye yagaanye okukikola ng’agamba nt’omwanawe amwagala tayinza kumusuula ng’ate yamuzadde mulamu bulungi.

Nanjule mwennyamivu nnyo okulaba nga ne kitaawe (amannya yagasirikidde) naye yamulagidde okumuwa ssente asooke kusuula mwana!

Yategeezezza nti omwana ono ow’obuwala abasawo baabadde bamukozeeko ng’azze bulungi engulu okumala ennaku 5 ze baabadde baakamala mu ddwaliro okuleka eky’okuba nti yabadde alina obulumi bwamaanyi nnyo ng’ekizimba kimusika buli lw’aba ayagadde okusitula ku mutwe.

Dr. Raphael Opon eyasangiddwa ng’awa omwana ono obujjanjabi yagambye nti baafuna omukyala ono okuva mu kalwaliro ak’okukyalo gye yali agenze okuzaalira ne bamulemererwa bwe baakizuula nti omwana ono yali asoosezza kigere kimu ate bwe yeekyusa naddamu n’asooma kitundu kya mutwe okuli amaaso kwe kusalawo okumuddusa mu ddwaliro eno mu bwangu.

Ono yalongoosebwa bulongoosebwa nga Dr. Opon yagambye nti  baamwongeddeyo mu ddwaliro e Mulago oba e Mbale mu Cure Children’s hospital ewali abakugu bayinza okwongera okwekebejja embeera y’omwana ono n’okulaba oba ayinza okulongoosebwa.

Muganda wa Nanjule eyasangiddwa nga ng’amujjanjaba Racheal Nanziri yasabye abantu okuvaayo babadduukirire n’ensimbi batwale omwana waabwe afune obujjanjabi obw’ekikugu basobole okumukuza.

Alina obuyambi asobola okutuuka ku Nanjule ng’ayita ku ssimu nnamba, 0701281394 ng’eri mu mannya ga Racheal Nanziri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mab2 220x290

Male Mabirizi atutte Gavumenti...

Male Mabirizi atutte Gavumenti mu kkooti

Hb1 220x290

Abalabirizi baagala kusisinkana...

Abalabirizi baagala kusisinkana Kabaka

Kib2 220x290

Aketalo nga URA etunda mmotoka...

Aketalo nga URA etunda mmotoka ne pikipiki ku nnyonda.

Lab2 220x290

Bumate United FC etanziddwa emitwalo...

Bumate United FC etanziddwa emitwalo 50 mu Big League

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye