TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasajja abafumbo basabiddwa okukuliza abaana mu ddiini

Abasajja abafumbo basabiddwa okukuliza abaana mu ddiini

By Deo Ganyana

Added 4th March 2019

Abasajja abafumbo basabiddwa okukuliza abaana mu ddiini

Leb2 703x422

ABASAJJA Abafumbo mu busabadikoni bwe Nateete abegattira mu kibiina kya “Father’s Union”  bakubiriziddwa okwerekereza byonna bakulize abaana baabwe mu diini kubanga ky’ekirabo ekisinga kyebayinza okubalekera .

Bino byayogeddwa akulira abasajja abafumbo mu Bulabirizi bwe Namirembe Wilber Naigamba nga yeyabadde omugenyi okukulu ku mukolo abasajja abafumbo mu busabadikoni bwe Natete gyebakulizza okulaku lwabwe era nga lwerwabadde olunaku kwebalambulidde omulimu gw’okuzimba eKanisa ya Makaayi wegutuuse .

Naigamba yetegezezza ng’ensangi zino bwewaliwo abantu abakola ebikolobero nga eby’ettimba ng’okutta aabantu ,okukuba abakazi oba abasajja naye nga bino byonna biva mu butakuliza baana mu diini kubananga omuntu akulidde mu diini kibeera kizibu okubeera n’omutima omubi .

Ye Sabadikoni we Natete Ven. Godffrey BK Buwembo yebazizza abasajja abafumbo mu busabadikoni bwe Natete bulijjo okufunanga akadde nebasisinkana kubanga ensisinkano nga zino zivaamu ebibala ebirungi ebizimba eggwanga n’ekanisa okutwaliza awamu .

Ye Akulira abasajja abafumbo mu busabadikoni bwe nateete Benon Ssentongo yebazizza banne bulijjo okufaayo okujjum,biaranga emikolo nga gino egibeera kutegekeddwa kubanga ng’amaka bwegabeera ng’abasajja bebabeera abakulu  ne mu kanisa bwekiri era abasajja gwemutwe omukulu mu kukulakulanya eKanisa ya Crisito n’olwekyo balina okwongera okujjumbira emirimu gy’ekkanisa ya Uganda .  

Oluvannyuma  bano balambudde ekkanisa Galigwoleaka eya makaayi eri mu kuzimbibwa  era wano basonze ssente eziwerako okusobola okumaliriza omulimu guno ogwatandika mu mwaka gwa 2014 nga kati bali ku kukomerera 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...

Kulanna 220x290

Eyali bba wa Kulannama awadde Kenzo...

Eyali bba wa Senga Kulannama n’amugoba, Abdul Lubega, awadde Kenzo amagezi nti byonna by’ayitamu ye (Lubega) bifaanana...