TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abakulira Disitulikiti y’e Mbarara bavunaaniddwa kukozesa bubi ofiisi

Abakulira Disitulikiti y’e Mbarara bavunaaniddwa kukozesa bubi ofiisi

By Musasi wa Bukedde

Added 4th March 2019

ABAKULIRA disitulikiti y’e Mbarara basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa okukozesa obubi ofiisi zaabwe.

Pika 703x422

Akulira abakozi e Mbarara, Felix Esoku (ku ddyo) ne Emmanuel Himbisa (ku kkono ) omupunta ku disitulikiti nga batuusibwa ku kkooti ewozesa abakenuzi e Kololo .

Bano kuliko, akulira abakozi ba gavumenti ku disitulikiti, Felix Esoku Cuthbert 50, nga yavunaaniddwa okuwaayo ettaka lya gavumenti eri abantu ku liizi.

Abalala ye; Godlive Nayebare 39, akulira eby’ettaka ku disitulikiti, omupunta w’ettaka, Emmanuel Himbisa 27 n’akulira abakozi Rosalia Karuhanga nga yavunaaniddwa kukyusa ebyateesebwako mu nkiiko.

Omulamuzi Abert Asiimwe, owa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo yasomedde abawawaabirwa emisango era bonna ne bagyegaana ne bategeeza omulamuzi ng’ensonga zino bwe zikyali ewa kaliisoliiso wa gavumenti nga zibuulirizibwako ng’okubaleeta mu kkooti kuba kubatulugunya.

Nga bayita mu bannamateeka baabwe abaakulembeddwaamu, Frank Kanduho baasabye kkooti ebakkirize beeyimirirwe era ne baleeta ababeeyimrira okwabadde abakozi ba gavumenti ku disitulikiti ez’enjawulo.

Wadde omuwaabi wa gavumenti, Marion Asiyo yabadde awakanya okusaba kwabwe, Omulamuzi yabayimbudde ku kakalu ka kkooti. Bano be bamu ku bantu abazze bakwatibwa akakiiko akaateekebwawo pulezidenti nga kakulirwa munnamagye Lt. Col. Edith Nakalema okulwanyisa enguzi mu bakozi ba gavumenti.

Kigambibwa nti, wakati wa February 23, 2016 ne January 2018, mu ofiisi zaabwe baagaba liizi ku ttaka erisangibwa ku poloti 5B mu kibuga Mbarara eri Charles Ngabirano nga bakimanyi bulungi ettaka lino si lya gavumenti ya wakati.

Oludda oluwaabi era lulumiriza nti wakati wa February 2016 ne January 2018 baagabanya ettaka ssaako okufuna ssente ez’okukulaakulanya ettaka okuva mu bakozi ba disitulikiti nga tebafunye lukusa kuva mu kakiiko k’ebyettaka mu ggwanga.

Omulamuzi Asiimwe yabakkirizza okweyimirirwa ku bukadde butaano, obusatu, n’obubiri ezaabuliwo n’abalagira okuwaayo paasipooti zaabwe mu kkooti mu bwangu ddala ssaako ababeeyimiridde obukadde 50 ne 30 ezitali za buliwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...