TOP

Eyalwala omutwe asaba buyambi

By Lawrence Kitatta

Added 4th March 2019

OMUWALA amaze n’obulwadde bw’oku mutwe okumala emyaka 15 alaajanidde abazirakisa bamuyambe asobole okulongoosebwa ekiwanga.

Saba 703x422

Nambuya

Barbra Nambuya 21, y’alaajanidde abazirakisa mu ggwanga n’ebweru w’eggwanga okumuyamba okumusondera ku nsimbi asobole okulongoosebwa emisuwa gy’oku mutwe egyazimba kati emyaka 15 ng’ali mu bulumi.

Nambuya abeera Gayaza ‘B’ mu town Council y’e Kasangati agamba nti, w’atuukidde okulaajanira abasomi ba Bukedde nga bazadde be batuuse ku kisenge era ne bamuleka olw’ebbanga eddene lye bamujjanjabidde nga tawona ate ng’embeera yeeyongera kuba mbi n’obulumi bwa maanyi.

Agamba nti, obulwadde buno bumulumisa omutwe, atuuka ekiseera n’alemwa okussa era bwamukwata ku myaka mukaaga ng’ali mu kibiina kya P1 bazadde be ne batandika okumutambuza mu malwaliro agatali gamu okulaba ng’abasawo bamuvumula kyokka ne bigaana.

Agamba nti, atambudde mu malwaliro amanene gonna mu ggwanga wabula nga bamugumya nti ajja kutereera, okutuusa omusawo omukugu lwe yamwekebezze n’akizuula nti waliwo omusuwa ku mutwe ogwafuna obuzibu.

Yagambye nti, omusawo yamutegeezezza nti omusuwa guno gutuuka ekiseera ne guzimba ekimuleetera obutassa n’okulemererwa okulaba era n’amutegeeza nti, alina kulongoosebwa nga kimwetaagisa obukadde 15 asobole okulongoosebwa atereere.

Nambuya alaajanidde abazirakisa yonna gye bali okumuyambako bamusondere ku ssente kuba abasawo bamuwadde wiiki bbiri zokka okusobola okulongoosebwa, singa zisukka kisobola okumuviirako okufuna endwadde endala ez’omutawaana.

Obuyambi osobola okubuyisa ku ssimu nnamba 0701777056 OBA 0701777085.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...