TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amannya g'abantu abalala Rwanda b'esonzeeko n'ebbanga lye bamaze mu busibe

Amannya g'abantu abalala Rwanda b'esonzeeko n'ebbanga lye bamaze mu busibe

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

Rwanda erumiriza Uganda okuyigganya bannansi baayo ng’ebasibira mu bifo ebitali bimu.

Pala 703x422

Omu ku basibe Abanyarwanda (mu ppinki) bwe yali ayogerako ne munnamateeka we Eron Kiiza mu kkooti y'amagye e Makindye.

Olukalala olugambibwa okuba olwa bannansi ba Rwanda abayigganyizibwa mu Uganda olwafulumiziddwa minisita omubeezi wa Rwanda avunaanyizibwa ku mawanga g’obuvanjuba bwa Afrika Oliver Nduhungirehe kwabaddeko Rene Rutagungira agambibwa nti yakwatibwa August 5, 2017 era nti amaze mu nkomyo ennaku 566.

Peter Siborurema agambibwa okukwatibwa nga March 11,2018 ng’amaze ennaku 287 ku kitebe kya bambega ekya CMI, Emmanuel Rwamucyo agambibwa okukwatibwa nga May 26, 2018 amaze mu kkomera e Makindye ennaku 272.

Ono agambibwa nti yakwatibwa lwa misango gyekuusa ku kusangibwa na mmundu.

Austine Rutayisire agambibwa okukwatibwa nga May 26, 2018 naye agambibwa okukwatibwa n’emmundu era ng’ali Makindye gy’amaze ennaku 272.

Abagambibwa okuba ku ku kitebe kya bambega b’amagye (CMI) kuliko Eric Rugorotsi yakwatibwa October 25,2018 ng’amaze mu nkomyo ennaku 120, Benard Kwizera amaze mu nkomyo ennaku 69, David Twahirwa amazeeyo 69, Moses Ishimye eyakwatibwa December 22, 2018 amaze mu nkomyo ennaku 62, Rogers Donn Kayibanda eyakwatibwa January 1, 2019 ng’amaze mu nkomyo ennaku 42, Emmanuel Ndayambaje yakwatibwa January 10, 2019

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana