TOP

Uganda yaakafiirwa obuwumbi 10 mu nnaku ttaano

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

UGANDA efiiriddwa ssente ezisoba mu buwumbi 10 mu nnaku ettaano, Rwanda z’emaze ng’eggadde ensalo yaayo ne Uganda okuli Katuna awasinga okuyisibwa ebyamaguzi.

Busborder 703x422

Kyokka okuggala ensalo kisinga kukosa Rwanda kubanga ebyamaguzi byayo ebisinga bituukira Mombasa ne biyita mu Uganda okutuuka e Rwanda.

Omukutu gw’amawulire ogw’ensi yonna ogukwata ku byobusuubuzi gulaga nti, Rwanda ebintu by’esinga okukozesa ebisuubula mu Uganda era y’ensi gy’esinga okusuubulagana nayo mu nsi yonna.

Omukutu gwa Trade Map, Trade statistics for international business development gulaga amawanga Rwanda gy’esinga okusuubula. lUganda egulayo ebitundu 14 ku 100

Kenya ebitundu 13 ku 100

China ebitundu 10 ku 100

Buyindi ebitundu 7 ku 100

Amerika ebitundu 5 ku 100

Bufalansa ebitundu 2 ku 100

Rwanda by’esinga okugula mu Uganda kuliko emmere naddala ey’empeke okuli omuwemba, kasooli, ebijanjaalo, ebinyeebwa n’omucere. Rwanda era esuubula mu Uganda enyaanya, kaamulali n’ebirala.

Ebirala Rwanda by’eggya mu Uganda kuliko amasannyalaze, eddagala n’ebyobujjanjabi, omunnyo, amata, sukaali, ebyuma bya sitiiru, aluminiyamu, seminti, layimu, ebidomola, embaawo n’ebirala.

Mu 2017 wokka, Rwanda yagula ebintu bya ddoola obukadde 182 mu Uganda. Mu ssente za Uganda.

Bw’ogatta ssente ezo nga ddoola emu ogibalidde ku 3700/- ogyamu eza Uganda obuwumbi 672. Mu nnaku ettaano ensalo ze zimaze nga nzigale, Uganda efiiriddwa obuwumbi 10.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi