TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga atonedde Abajulizi ba Uganda obukadde 300

Omugagga atonedde Abajulizi ba Uganda obukadde 300

By Hannington Nkalubo

Added 5th March 2019

ESSANYU libugaanye Abakristu ababadde ku mukolo gwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ng’atongoza ekitongole kya Uganda Martyrs Guild Development Foundation Klezia mw’egenda okuyita okutumbula ekkula ly’Abajulizi ba Uganda, munnassaayansi kayingo, Mathias Magoola bw’atonye obukadde bwa ssente 300 budduukirire okutambuza ensonga zino.

Taba 703x422

Ssaabasumba Lwanga (wakati) ng’asala kkeeki ne Magoola (owookubiri ku ddyo) ne mukyala we Kellen. Ku kkono ye Fr. Denis Ssebunnya Kizito.

Okutuuka okuwaayo bwatyo, Ssaabasumba Lwanga yasoose kulambika obukulu bw’okwesengereza Abajulizi be yagambye nti kye kirabo Katonda kye yawa Uganda ne Afrika yonna era kye tulina okwenyumirizaamu n’okweyambisa okwekulaakulanya mu ddiini ne mu mubiri nga tutwala ekyokulabirako kyabwe eky’okukkiriza n’obumalirivu bwabwe mu kufa ku lwa Kristu.

Yagambye nti ekitongole kya Uganda Martyrs’ Guild kyatandikibwa omugenzi Bishop Stensera, Omusumba eyasookera ddala mu Uganda ng’ayagala okuyita mu Bajulizi okukulaakulanya Bannayuganda mu by’eddiini n’eby’omubiri, ng’ayanukula omulanga gwa Paapa Pawulo VI eyasaba Abakristu ba Africa okwekulaakulanyiza Eklezia waabwe nga bayita mu kwewaayo bo kennyini awatali kulinda muntu mulala yenna.

Ebigambo bya Ssaabasumba byakkaatirizza ebyasoose okwogerwa Maneja wa Centenary Bank, Muky. Beatrice Lugalambi, ebya Chancellor w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Rev. Fr. Dr. Pius Male n’ebya Fr. Denis Ssebunnya Kizito Vicar wa Mitala Maria era Ssentebe w’olukiiko olukulu olw’ekitongole kino, bonna abaakirambise obulungi nti Eklezia mu Uganda okukula obulungi, Abakristu balina okwenyigira mu mirimu gyonna ate nga bwe beesengereza Abajulizi ba Uganda abaliko obujulizi obw’enkukunala nti asaba ng’ayise mu bo afuna.

Muky. Lugalambi yalambise pulojekiti eziwerako Eklezia mw’eyagala okuyita okusitula embeera z’abantu ng’eyita mu kitongole ky’abajulizi, omwabadde okuzimba ekizimbe ky’eggwandiisizo ly’Abajulizi ku Lutikko e Lubaga omunaaba ofiisi, n’ekifo awatendekerwa Abakristu mu misomo egya buli kika, okuzimba obutale bw’oku makubo era nga buno bujja kubaako Klezia entonotono kyokka ng’erimu ebintu bisatu; omuli awasabirwa, awajjanjabirwa, n’awali ebiyamba abantu mu byensimbi.

Enkola eno egenda kutandikira mu Uganda eryoke esaasaanire Afrika yonna. Pulojekiti endala ya Mazzi g’e Namugongo, okutendeka abakulembeze mu Klezia n’ebirala bingi, byonna ebijja okwetaaga obuwagizi obwa ssente.

Dr. Male yagambye nti yeewuunya okulaba nga Bannayuganda naddala Abakatoliki tebettanidde bulungi ekkula lw’Abajulizi bano, so ng’ate abaamawanga amalala nga Nigeria, Malawi, Zambia ne Congo babafiirako.

Mu mbeera eno, Mathias Magoola mwe yasitukidde ne yeewaako obujulizi nga bw’azze afuna ng’ayita mu kugaba naddala eri Klezia, n’agamba nti era alumwa nnyo bw’asanga omusosodooti oba omusiisita ali mu mbeera embi n’alayira okukola kyonna ky’asobola okutuusa lw’aliva mu nsi okulaba ng’embeera yaabwe eba nnungi.

Wano we yasinzidde n’alangirira nti ensawo y’Abajulizi agitaddemu obukadde 300 be ddu, olwo abaabaddewo ne basooka basiriikirira, engalo ne zibwatuka obutasalako era ng’abantu bonna bayimiridde nga beewuunya omuwendo gwa ssente omwami ono gw’awaddeyo.

Magoola munnassaayansi eyavumbula eddagala erigema omusujja gw’ensiri, yakola eddagala eriwonya omusujja gw’ensiri eriyitibwa ARTAVOL erigambibwa okuba nga lye likyasinze, alina eddwaaliro erikola ku magumba n’abaana abalina obulwadde Dawn’s Syndrome obubaleetera okunyeenya emitwe nga bawungirivu era nga lye likyasoose mu nsi yonna okubajjanjaba ne bawona.

Yagambye nti yazaalibwa musajja mwavu asembayo e Kamuli mu Busoga, kyokka olw’amaanyi ga Katonda, yamuwa amagezi ag’enjawulo era ye yali asinga mu kibiina okuva mu nasale okumalako yunivasite era kati akozesa Bazungu mu ddwaaliro lye ery’e Bwebajja.

Magoola eyabadde omugenyi omukulu, we yayogeredde abagenyi bangi abalala abaakwatiddwaako ku nsonga eno abaabadde bamaze okuwaayo ensimbi ezikunukkiriza eyo mu bukadde 100.

Ssaabasumba yeebazizza nnyo Magoola ne mukyala we, Kellen Magoola, wamu n’abeebitiibwa bangi abeetabye ku kijjulo kino era abaawaddeyo mu ngeri eyoobuteebalira, n’akakasa nti Abakristu bwe baneewaayo bwe bati okukulaakulanya Eklezia waabwe, tewali kijja kubalema.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...

Unity0 220x290

Ebirabo Hamza bye yatutte mu kwanjula...

ABA famire ya Rema Olwokutaano baalumazeeko beetala oluvannyuma lw’okugabana ebintu ebyaleeteddwa mu kwanjula kwa...

Kusasa 220x290

Aba NRM temunnwanyisa - Kusasira...

OMUYIMBI Catherine Kusasira eyaakalondebwa ku buwabuzi bwa Pulezidenti ku nsonga za Kampala asabye abakulembeze...

See1 220x290

Hamza ne Rema baalaze kiraasi etabangawo:...

BULI eyabadde atuuka mu kifo omukolo gwa Rema ne Hamza ng’alabirawo ssente ezaayiiriddwaamu n’obutetenkanya. Baatimbye...

Yambala 220x290

Ebyambalo ku mukolo gwa Rema byamazeewo...

Patience Kentalo eyakuliddemu ttiimu eyayambazza Rema yagambye nti kibatwalidde emyezi mukaaga okulowooza n’okuteeka...