TOP
  • Home
  • Special News
  • Omugagga wa Shumuk addukidde mu kkooti olw'obubugagga bye ebyolekedde okutundibwa

Omugagga wa Shumuk addukidde mu kkooti olw'obubugagga bye ebyolekedde okutundibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

Omugagga wa Shumuk yeekubidde enduulu mu kkooti olw'ebyobugagga bwe ebigenda okutundibwa aba Bbanka ya Baroda.

Theexecutivedirectorshumukinvestimentlimitedmukeshshuklaappearingatbugandaroadcourt6403812 703x422

Omugagga wa Shumuk ng'ali mu kkooti ya Buganda Road.

OMUGAGGA wa Shumuk, Mukesh Shukla ne kkampuni ye eya Shumuk Aluminum Industries Ltd ebbanja limuzaalidde leenya n’addukira mu kkooti eyimirize okutunda ebintu bye ebyawemmenta obutitimbe bw’ensimbi, Bbanka ya Baroda bye yagala okutunda ku nnyondo lwa bbanja lya buwumbi 6.

Binnyonkondo ono ng’ali w’amu ne kkampuni ye eya Shumuk Aluminum Industries Ltd yagenze mu Kkooti Enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala ku musango nnamba CS 138/2019 n’awawaabira Bbanka ya Baroda (Uganda) Ltd okuyimirizibwa okutunda ebintu bye.

Mu bintu ebirina okutundibwa mwe muli; LRV 2909 folio 9 poloti 24 ku luguudo lwa Mukaabya mu Kampala ne LRV volume 2566 Folio 23 poloti nnamba M700 ng’ettaka lino lisangibwa ku UMA Lugogo  Nagulu mu Kampala.

 Kino kiddiridde aba bbanka eno ng’abayita mu bannamateeka baabwe aba Kateera & Kagumire advocates and solicitors okubawandiikira ebbaluwa nga January 25 omwaka guno nga babategezza nti baakutunda ebintu byabwe bye baasingayo ssinga tebasasula bbanja lya doola 54,010.45 ate eza Uganda ziri 6,622,193,474 ng’omugatte ziri 6,822,516,564 nga mulimu amagoba mu nnaku 45 ez’okukola era ebbaluwa eno abawaabi bagifuna nga January 29 omwaka guno.

Shumuk ne kkampuni ye eya Shumuk Aluminum Industries Ltd mu mpaaba yaabwe bagamba nti abadde kasitoma wa bbanka eno okuva mu 1992 wabula yeewola 6,360,000,000 ne doola 350,000 nga yasingayo ebintu ebyo waggulu era abadde asasula ku bbanja lino.

Wabula yeewuunya okulaba nga bamuwandiikira ebbaluwa nti bagenda kutunda ebintu bye ku nnyondo nga bagamba nti tasasula ky’agamba nti si kituufu kuba ye abadde asasula. Ayongerako nti okuva mu January wa 2017 baamuwa emyezi 48 zaalina okusasuliramu ssente zino ezitannaggwaako.

Kati asaba kkooti erangirire nti aba bbanka eno baamenya endagaano gye baakola naye, okuteekawo ekiragiro ekigaana okutunda ebyobugagga bye n’ebirala. 

Mukesh Shumuk y'ani?

Yazaalibwa mu 1962 mu disitulikiti ya Arua  nga kkampuni ze ezisinga zitandika ne linnya Shumuk okuli Shumuk Aluminum Industries Ltd, Shumuk Properties Ltd, Shumuk tours and travel Ltd neddala okuli ezikola amata, ebizimbe mu Kampala omuli ne wooteeri.

Kitaawe yali akolera mu kitongole ky’emisolo ekya Uganda Revenue Authority wakati wa 1959 okutuusa mu 1986. Nga famire yaabwe erudde ng’ekola amasefuliya okuva mu 1939.

Era mu mpaaba emu gye buvuddeko aba Shumuk bategeezza  nti eyali Crane Bank yatunda eky'obugagga kyabwe ekiri ku FRV 355 folio 21 poloti 21-27 ekisangibwa ku Buganda Road nga kibalirirwamu obukadde 3 obwa ddoola ne bakiguza Farida Nabirongo. Crane Bank ne beesasula obuwumbi 10 obwali bumubanjibwa.

Olulala Mukesh Shukla yatwala bawannyondo ba kkooti ne bagoba omugenzi Bonny Katatumba mu kizimbe kye ekiyitibwa Katatumba Suits ku poloti 2 ku luguudo lwa Colville, kye yali yamugobamu n’akyezza kyokka ne Katatumba n’afuna ekiragiro ekirala ekigaana okumugobamu.

Ate olulala omugagga wa Shumuk ono byamwonoonekera kuba yali akyali ku misango egyamukwasa egy’okujingirira omukono gwa Ssaabalamuzi ate omugagga munne Hajji Haruna Ssemakula amanyiddwa nga General Parts naye navaayo n'empapula ng'amulumiriza  okulemera mu kizimbe kye, kye kye yagamba nti yali akimubbyeko kyokka kkooti n'ekimuwa ate n'agaana n'okumuliyirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala1 220x290

Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala...

Omuwala afudde mu ngeri erese ekitundu mu ntiisa sso ng’ate munne bwe baasuze mu muzigo gwe gumu addusiddwa mu...

Muhayiminanamuwayaowajkldolphinswakatingalwaniraomupiiraneroseakonkuddyonezainahlokamweriaba9317 220x290

Fayinolo ya liigi mu basketball...

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL ne Sarah Ageno owa UCU buli omu awera kulemesa munne kikopo.

Ju1 220x290

Laba ekyabadde ku Introduction...

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Bobiwine4e1575702705296 220x290

Engule Bobi Wine gye yawangudde...

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku...

Kubayo 220x290

Basse omulaalo ne bamuziika ne...

ABATEMU balumbye amaka g’omusuubuzi e Kajjansi ne bawamba omulaalo. Baamututte ku lusozi e Kajjansi okumpi ne Nakigalala...