TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda eyiye abaserikale ku nsalo ne Rwanda okukuuma obutebenkevu n'okulwanyisa ababbi

Uganda eyiye abaserikale ku nsalo ne Rwanda okukuuma obutebenkevu n'okulwanyisa ababbi

By Eria Luyimbazi

Added 5th March 2019

Poliisi eyiye abaserikale ku nslo ya Uganda ne Rwanda okukuuma obutebenkevu. Ku nsalo eno emmotoka eziriko ebyamaguzi zikonkomaliddewo okuva Rwanda lwe yaggala ensalo zaayo.

Ka1703422 703x422

Fred Enang, omwogezi wa poliisi mu ggwanga.

POLIISI eyiye abaserikale ku nsalo ya Uganda ne Rwanda  okusobola okukuuma mmotoka ezittise ebyamaguzi ezaagaaniddwa okuyingira eggwanga lino, okusobola okutangira ababbi n’okukuuma obutembenkevu .

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti “Okugezaako okulondoola ebigenda mu maaso ku nsalo ya Uganda ne Rwanda  poliisi yasazeewo okuyiwa abaserikale okusobola okulondoola ebigenda maaso n’okutangira ababbi  okubba ebyamaguzi ku mmotoka,” Enanga bwe yategeezezza

Yagambye nti nti mu kusooka abasuubuzi baali balagiddwa okuyitira e Mirama Hills okusobola okuyingira mu ggwanga lya  Rwanda oluvannyuma lw’okuggala ensalo e Katuna ne Kyaka wabula wonna ne basanga nga nayo waggaddwa n’ekibaleetera okunkonkomalira ku nsalo.

Yategeezezza  nti obukiiko obukola ku nsonga z’ebyokwerinda mu disitulikiti eziriraanye ensalo eno butandise  okuteesa naddala ku byokwerinda ng’enkiiko zikubirizibwa ba RDC n’abebitongole by’ebyokwerinda byonna. Yasabye abantu okuba abakkakkamu ng’enteeseganya bwe zigenda mu maaso .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza