TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omubaka Zaake ayimbuddwa: Kati alya butaala

Omubaka Zaake ayimbuddwa: Kati alya butaala

By Kizito Musoke

Added 5th March 2019

OMUBAKA wa Mityana Munisipaali, Francis Zaake alya butaala oluvannyuma lw’omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Gulu, Stephen Mubiru okumuyimbula okuva mu kkomera e Gulu gy’amaze ennaku 10.

Linnya 703x422

Eddie Mutwe (ku kkono) ababaka Latif Ssebaggala, Francis Zaake ne Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) nga bawaga oluvannyuma lw’okuyimbula Zaake.

Zaake yakwatibwa nga February 21, mu Kampala, enkeera n’atwalibwa mu kkooti y’e Arua gye yasomerwa omusango gw’okutoloka mu kkomera.

Yayimbulwa ku kakalu ka kkooti ku bukadde 50 ezitali zaabuliwo, kyokka aba yaakateebwa ate n’addamu okukwatibwa.

Yatwalibwa butereevu mu kkooti e Gulu ey’omulamuzi Isaac Kintu gye yasomerwa omusango gw’okulya mu nsi olukwe.

Kigambibwa nti ng’ali ne banne baakuba emmotoka ya Pulezidenti amayinja bwe baali mu kulonda kwa Arua Munisipaali mu August 2018.

Omulamuzi yasindika Zaake mu kkomera ly’e Gulu okutuusa nga March 14, 2019 olw’okuba nga kkooti ye yali terina buyinza buwulira musango gwa naggomola.

Mu kkooti eyatudde eggulo, omulamuzi Mubiru yayimbudde Zaake ku kakalu ka bukadde butaano ezitali za buliwo, oluvannyuma lwa munnamateeka we, Henry Komakech Kilama okutegeeza nga bwe liri eddembe ly’omubaka okweyimirirwa nga bwe kirambikiddwa mu katundu 23 (6) aka Ssemateeka w’eggwanga.

Abeeyimiridde Zaake kwabaddeko mukyala we Bridget Namirembe, muganda we Daniel Mugambwa n’omubaka wa Butambala, Muhammad Muwanga Kivumbi ku kakalu ka bukadde 10 ezitali za buliwo n’omusango ne gwongezebwayo okutuuka nga March 14, 2019 lwe gunaddamu okuwulirwa.

Zaake lwanaakomawo mu kkooti asuubirwa okuvunaanibwa ne banne abalala 35 bwe bali ku musango gwe gumu ogw’okukuba emmotoka ya Pulezidenti amayinja.

Abavunaanibwa kuliko; Robert Kyagulanyi (Kyaddondo East) , Kasiano Wadri (Arua Munisipaali), Gerald Karuhanga (Ntungamo Munisipaali) n’abalala.

Obutafaanana ng’abasibe abalala Zaake abadde tabeerangako mu kkooti ku musango guno olw’okuba emirundi gyonna abadde mulwadde.

Abamu ku babaka ba Palamenti abaabaddewo ng’ayimbulwa kwabaddeko; Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira Munisipaali) , Paul Mwiru (Jinja Munisipality East) ne Allan Ssewanyana (Makindye West).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Son 220x290

Taata na yasooka kunkolako byawongo...

OKUSOBYA ku bawala ng’ate ababasobyako bahhanda zaabwe mu maka mwe babeera kikyali kizibu kinene ekyetaaga okunogera...

Love 220x290

Omwana wange namuyonsa ne mmusiiga...

NZE Gertrude Namaganda(38), Mityana. Bwe nali ku myaka 28 mu June wa 2009, nafuna omwami eyali ansuubizza okunjagala...

Kutula 220x290

Mukwano gwange yankwata mu liiso...

Nafuna omuwala gwe nnayagala okuzaama era nga mmulinamu n’essuubi ly’okumufuula mukyala wange naye byonna byafa...

Namwandu 220x290

Bannamwandu ba Kirya balumbye muggya...

FAMIRE y’omugenzi Sheikh Ibrahim Kirya eyatemulwa mu 2015 eyongedde okutabuka ng’entabwe eva ku bigambibwa nti...

5216 220x290

Kkondomu ezisoba mu kakadde 1 ezirimu...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....