TOP

Ssaalongo bamukute mu bubbi bwa bodaboda

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

Kato bwe yakwatiddwa yategeezezza nga bwe yabba pikipiki asobole okunoonyeza abalongo eky’okulya kubanga embeera yali emukalubiridde.

Ssalongoeyakwatiddwamububbi 703x422

Ssaalongo eyakwatiddwa

Ssaalongo akwatiddwa mu bubbi bwa bodaboda ne yeewozaako nti abadde ayiiyiiza balongo be

Christopher Kato 27, abeera mu Maganjo B nga muzimbi ye yakwatiddwa poliisi y’e Kasangati oluvannyuma lwa Bruce Nyesiga okumulumiriza okubba pikipiki ye nnamba UEL232M. 
Nyesiga yategeezezza nti; nga February 13, 2019 Kato yagenda  ku siteegi n’amusaba amuvuge amutwale e Nabuti alabe bannyina.

N’agamba nti yamulinda ne baddaayo bonna kubanga  yalina ebintu bye bamusibiridde kyokka baali bakatuuka  e Busukuma n’amutegeeza nga bw’aliko mukwano gwe gwayagala okuwa ku bintu.

Yayimirizza pikipiki asobole okuggyako ebintu era n’avaawo okugenda mu kaabuyonjo kyokka yagenda okudda nga Kato asimbula pikipiki era bwe yamubuuza gye yali agitwala n’amutegeeza nga bw’agenda ku ‘Mobile Money’ okuggyayo ssente. 

Yamuleka n’agenda kyokka yakanda ku mulinda nga tamulaba era amassimu ge yamukubira nga tagakwatta.

Yaggulawo okusango ku fayiro nnamba  SD: 29/14/02/2019 ne batandika okunoonya pikipiki okutuusa bwe baagizuula. Wabula Kato bwe yakwatiddwa yategeezezza nga bwe yabba pikipiki asobole okunoonyeza abalongo eky’okulya kubanga embeera yali emukalubiridde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza