OMUMYUKA w’akulira eggye ly’omu bbanga Javas Mugyenyi asabye abaserikale okuwerera abaana baabwe kibayambe okubeera mu bulamu obulungi.
Yabadde ku mukolo gw’okwambaza ennyotta abaserikale b’eggye ly’omu bbanga 139 abaakuziddwa. ogwabadde e Bugonga, Ntebe. Omukolo gwetabidwako omubaka w’e Ntebe Munisipaali mu Palamenti Rose Tumusiime, RDC w’e Ntebe Noor Njuki Mbabali n’abalala.
Mugyenyi yagambye nti buvunaanyizibwa bwa buli muzadde okulabirira omwana gw’azadde omuli n’okumuweerera.
Yasabye abaserikale abaweereddwa ennyotta okukola ennyo kubanga buli muntu bw’akuzibwa abeera n’obuvunaanyizibwa obulala.