TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't eggyewo kalantiini abalunzi ne bafuna obuweerero

Gav't eggyewo kalantiini abalunzi ne bafuna obuweerero

By Muwanga Kakooza

Added 5th March 2019

Gav't eggyewo kalantiini abalunzi ne bafuna obuweerero

Got2 703x422

Minisita Vicent Ssempijja ng'annyonnyola ku by'okuggyawo Kalantiini

GAVUMENTI eggyewo kalantiini w’okutambuza ebisolo gwe yassa ku disitulikiti y’e Gomba, Sembabule, Lyatonde ne Kyegegwa oluvannyuma lw’okuzuula nti obulwadde bwa kalusu obwali bumusisizzaawo bwaweddewo.

Minisita w’ebyobulimi Vincent Bamulangaki Ssempijja  yagambye nti kalantiini yali assiddwa ku maggombolola okuli Maddu ne Kabulasoke e Gomba, Kabula mu disitulikiti y’e Lyantonde, Lugusuulu e Sembabule , Ruyonza n’e Ngabo mu disitulikiti y’e Kyegeegwa e Tooro.

Ssempijja yagambye bannamawulire mu Kampala nti disitulikiti ezikyaliko kalantiini zirina okulaba nga zitema empenda okumalawo obulwadde bwa kalusu. Obulwadde buno bukwata ente,embuzi, endiga n’embizzi.

Busasaanira mu nkwaso,omusulo,amalusu,amata, n’obussa.Mu kisibo obulwadde bwa kalusu busasanyizibwa bisolo kukwatagana na binnabyo.Ssempijja yasabye abalunzi okulaba ng’embwa ne kkapa tebisemberera bisolo byabwe kuba nabyo biyinza okusasaanya obulwadde buno.

Yagambye nti abalunzi balina okugaana abantu okukyala ku ffaamu zaabwe. N’agamba bwe baba bakyadde babasizzeewo ebifo we bazooka okulinnyisa engato oba emipiira gy’emmottoka ku mugukiriro gwa ffaamu zaabwe ng’ebifo ebyo bissiddwaamu eddagala erigema endwadde.Yabasabye okugema ebisolo buli myezi mukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza