TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Gwe baatutte ku kyeyo mu Oman bamusobezzaako kirindi

Gwe baatutte ku kyeyo mu Oman bamusobezzaako kirindi

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

Yayomba nnyo nga bw’antegeeza nti nteekeddwa okukola ky’ayagala kubanga yali antaddemu ssente nnyingi okutuuka mu Oman ne bannange abalala. Yandaga obutambi bwe yakwata ku ssimu ye, ng’afumita abawala ebiso n’okubattisa amasasi mu bukambwe, olw’okumujeemera, n’angamba nange obuteeyibaala singa ngaana okwegatta naye.

Oman1 703x422

Moureen Nassaka ng'alaga ebbeere erivaamu amazzi.

Moureen Nassaka, addukidde ku poliisi ya Kira Road, n’aggulawo omusango ku bantu abaamutwala ku kyeyo mu Oman, kyokka bwe yatuuka eyo ne bamufuula mulenzi wa kaboozi nga buli musajja eyali yeetaaga okwemalako ejjakirizi ng’alimalira ku ye.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire,yategeezezza nti, batandise okunoonyereza ku Emmanuel Sekayiba ‘Uncle Emma’ n’omusomesa w’e Masaka, Jane Namusoke, eyeeyita ‘Miss Jane’ b’alumiriza okufunira abawala ekyeyo kyokka olutuuka eyo ne babawa abasajja ne babakozesa ku kifuba.

Ebyatuuka ku Nassaka abinyumya bw’ati; “Waliwo mukwano gwange ayitibwa Gloria, eyagenda okukuba ekyeyo mu mawanga ga Buwalabu eyansikiriza nange ne njagala ngende mmwegatteko kubanga obulamu mu Uganda bwali bunnyiga olw’obwavu obutasalako.

Nabuuza Gloria, engeri gye yakikolamu kwe kundagirira ‘Miss Jane’ era nange ne ngenda ewuwe. Bwe natuukayo, yangamba nnoonye ssente 150,000/- ankolere ku densite, empapula z’eddwaaliro, n’ebbaluwa ya poliisi ne  paasipoota.

Nanoonya ssente ze  yangerekera  era olwazimutwalira n’ansidnika ewa ‘Uncle Emma’ abeera e Kyengera, nti buli kimu ye yali agenda okukimala. Natuuka e Kyengera ne nkubira Emma essimu oluvannyuma n’ansindikira owa bodaboda, eyantuusa ku kisakaate, we yali.

Nasanga abawala abalala abaali basoba mu 20, nga nabo abakungaanye okubatwala ku kyeyo. Nga tetunnasimbula, ‘Uncle Emma’ yaleetanga emmotoka n’etutwala okulima nga bw’atugamba nti, paasipoota zaffe zaali tezinnaggwa  n’atugumya nti tugenda kuzifuna

  Nze ndi Munyankole naye  ‘Uncle Emma’ yangamba nti ntandike kweyita ‘Nassaka’ nti kuba ge mannya agaali gafulumidde mu Paasipoota yange. Olw’ensonga nti nali nneesunga okugenda okukola nsobole okusindikira ku taata ne ku ssente, eky’okukyusa erinnya saakisangamu buzibu.

Oluvannyuma baatulonda abawala basatu (Phiona ne Sumaiyah nange) ne batutwala ku minisitule y’ensonga z’omunda (Internal Affairs) era ne tufuna paasipoota zaffe, wabula nga ziri mu mannya malala okuggyako ebifaananyi byaffe byokka nga bye bituufu.

Twalinnya takisi n’etutwala e Busia, gye baatuteeka mu kazigo okumala olunaku lulamba. Enkeera wajja omusajja ayitibwa Osolo n’atugamba nti tugenda Kenya gye tulina okulinnyira ennyonyi etutwala mu Oman.

Osolo yatugamba buli omu ayambale mu ngeri etafaanana ya munne. Nze yampa obugoye obumpi, omulala n’ayambala ‘Hijaabu’ ate munnaffe ow’okusatu  n’ayambala gomesi.

Okuyingira Kenya, twali ku bigere, wabula nga buli omu yaweebwa omusajja ow’okutambula naye era ne batugamba nti ssinga batubuuza gye tulaga, tuddemu nti, “Bano ba bba baffe.”

Nga tumaze okusala ensalo, twalinnya bbaasi eyatutwala e Kenya, era nga eno gye twasanga omusajja ayitibwa Musa, eyatutwala ku kisaawe kya Jommo Kyenyatta International Airport.

Ennyonyi yasooka yatussa Dubai oluvannyuma ne tweyongerayo mu Oman. Twatuukira ku ofiisi  ew’omusajja ayitibwa Muhammad.

Bannange be twagenda nabo (Phionah ne Sumaiyah) be baasooka okutwala nze ne nsigala. Obudde we bwaziba Muhammad, yatandika okunsaba omukwano, n’emugamba nti nnali nzize kukola mirimu gya bwayaaya so si bwamalaaya.

Yayomba nnyo nga bw’antegeeza nti  nteekeddwa okukola ky’ayagala kubanga yali antaddemu ssente nnyingi okutuuka mu Oman ne bannange abalala. Yandaga obutambi bwe yakwata ku ssimu ye, ng’afumita abawala ebiso n’okubattisa amasasi mu bukambwe, olw’okumujeemera,  n’angamba nange obuteeyibaala singa ngaana okwegatta naye.

Nawulira nga ntidde ebitagambika n’ansinza amaanyi ne mmuleka n’akola kye yali ayagala kye saamanya nti, eyo yali ntandikwa kubanga waayita eddakiika mbale, abasajja abalala mukaaga, nabo ne bajja ne bankozesa mu ngeri y’emu.

Oluvannyuma bantwala mu nnyumba ez’enjawulo gye nasanga abasajja ab’enjawulo ne bankolako effujjo era kabula katono okweggya mu budde nga mpulira ensi entamye.

Bankozesa mu kamwa, wansi ne mu kabina awatali kwerwanako kwonna. Waliwo omuwala Omunigeria, ayitibwa Joe, eyansanga we baali bantadde n’emuyitiramu embeera embi gye nali mpitamu kwe kumpa essimu ne nsindikira ‘Uncle Emma’ ‘voice messages’ nga mmutegeeza embeera gye nali mpitamu.

Nga wayise akaseera, ‘Uncle Emma’ yajja we nali mbeera ne mmubuulira buli kimu kye nali mpitamu n’alaga nti anyoleddwa nnyo.

Yankakasa nti agenda kunnyamba nzireyo e Uganda, era n’ampa ekiwandiiko n’ansaba nteekeko omukono gwange. ‘Uncle Emma’ n’angamaze okugenda ekiro ekyo, abasajja baddamu okunkozesa.

Amabeere n’ebitundu by’ekyama byatandika okumbabuukirira olwo nga buli ajja ankozesa mu kamwa n’empulira ng’njagala nfe kuba nali sikyalina kye ngasa ku nsi. Olw’okuba nnali nfa obulumi buli musajja eyankozesanga naleekaanira nga waggulu, ne batandika okunsonseka ebigoye mu kamwa.

Waliwo omusajja eyali ayitibwa Muniiru, eyanteeka mu mmotoka n’anvuga ng’agamba nti yali akwatiddwaako embeera embi gye nnalimu.

Ono yavuga anziza mu ddungu, kyokka olwatuuka eyo, yapaakinga n’atandika okundagira okwegatta naye olwo omutima ne guddamu okuntundugga buto.

Nagezaako okugaana nga mpulira si kyalina maanyi gonna gakola kye yali ayagala kwe kunzigirayo ekiso n’antiisatiisa okunzita. Oluvannyuma nawulira ekintu ekinkuba ku mutwe n’empunga omulundi gumu nagenda okudda engulu ng’andaba ndi mu nnyumba ate we baali banzigye wabula nga nina ekiwundu ku mukono nga nvaamu omusaayi mungi.

Ebitundu byange eby’ekyama nabyo byatandika okuvaamu omusaayi,  amabeere ne gatandika okujja amazzi nga n’emabega n’esiba ‘pampa’ nga mwana muto, anti nga si kyalimu kasiba yadde!

Omukazi omuzirakisa yannyamba n’atandika okumpa obujjanjabi era bwe nafunamu ku maanyi n’anfunira ow’okukolera nga njoza engoye. Bampanga ‘riyal 60’ mu za Uganda gye mitwalo 50. Ssente nazisindikira muganda wange ayitibwa Grace Nabasumba, era wano we nafunira omukisa okutegeeza ab’eka ekitundu kye ndimu n’embeera gye nali mpitamu oluvannyuma ne bakola ku nteekateeka y’okunkomyawo e Uganda. Nassaka yakomawo nga February 22, 2019, kyokka okuvamu omusaayi tekusalaka n’amabeere okutonnya.

Ye Emmanuel Sekayiba ‘Uncle Emma’ ne Jane Namusoke ‘Miss Jane’ bwe twabatuukiridde ku ssimu beegaanye ebiboogerwaako byonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nom1 220x290

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka...

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka ku mukolo gw'okutuuza omulabirizi

Grave1 220x290

Abaffamire ya Nkoyooyo batabuse...

ABA FFAMIRE y’eyali Ssaabalabi­rizi w’ekkanisa ya Uganda, omu­genzi Bp. Livingstone MpalanyiNkoyoyo baguddemu ekikang­abwa...

Sit24 220x290

Abawala babuutikidde abalenzi mu...

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6

Sophia 220x290

Kabakko ayogedde ebya Sheebah ne...

OMUYIMBI Kabakko (akutte akazindaalo) akkakkanyizza emitima gy’abawagizi ba Sheebah Kalungi (mu katono) abangi...

Tim1 220x290

Engeri Omubaka Peter Sematimba...

Engeri Omubaka Peter Sematimba gy'ayiseemu ebigezo bya senior 6