TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda etandise bubi mu z'omukwegezaamu e Turkey

Uganda etandise bubi mu z'omukwegezaamu e Turkey

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

Uganda etandise bubi mu z'omukwegezaamu e Turkey

Mok1 703x422

Abazannyi ba Uganda nga basanyukira Ggoolo gyebaasoose okuteeba mu kitundu ky'omuzannyo eky'asoose

Bya Joseph Zziwa

TTIIMU ya Uganda eyabali wansi w’emyaka 17”The Cubs” ekiguddeko bw'etimpuddwa Cameroon goolo 4-1 mu mupiira gw'esoose okuzannya mu bibinja. 

Kino kirese omutendesi Jackson Magera n’akakiiko ke nga bewuunya kuba Uganda yatandise namaanyi nga yeyasoose n’okuteeba nga eyita mu Rogers Mugisha aguzannyira mu Mbarara City ey’abato mu dakiika ye 15.

Ebintu bigenze bikyuuka era weguwumulidde nga guli 1-1,mu kitundu eky’okubiri ekisenge kya Uganda ekidduumirwa Gavin Kizito Mugweri(Vipers) kyongedde okulagaya okukkakana nga Uganda ekubiddwa goolo 4-0 eziteebeddwa Wamba Lionel x2,Mvoue Steve ne Alioum Seidou,songa n’omuzannyi wa Uganda John Rogers aguzannyira mu Onduparaka ey’abato afunye kaadi emyuufu.

Kati Uganda egenda kuttunka ne Morocco enkya ate ku lw'okutaano esembyeyo Belarus 

gy'ebibinja.

Ekigendererwa ky’empaka zino kugezesa mawanga agaakiika mu Mpaka za AFCON U17 ez’akamalirizo ezigenda okubeera mu gwanga lya Tanzania omwezi gw’okuna nga zategekeddwa CAF nga eyambibwako UEFA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.