TOP

Mweyambise Klezia okutuusa obubaka ku bavubuka

By Lawrence Kitatta

Added 5th March 2019

AKULIRA abavubuka mu Ssaza Ekkulu ery’e Kampala, Faaza Joseph Luzindana ayagala Gavumenti yeeyambise Eklezia mu nteekateeka zaayo ez’okukulaakulanya abavubuka.

Kujaguzabavubuka 703x422

Faaza Zziwa (asooka ku kkono), Luzindana, Hon. Lydia Wanyoto, Kasule Lumumba, Faaza Benedict Mugerwa n'abalala

AKULIRA abavubuka mu Ssaza Ekkulu ery’e Kampala, Faaza Joseph Luzindana asabye Gavumenti okwegatta ku Eklezia mu nteekateeka zaayo ez’okukulaakulanya abavubuka. 

Bino yabisabye Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba ku mukolo abavubuka kwe baakulizza olunaku lwabwe ogwabadde ku kiggwa ky’Abajulizi e Namugongo ku Ssande.

“Bwe muba mwagala okukyusa endowooza z’abavubuka n’okubakulaakulanya, mweyambise enteekateeka y’Eklezia mujja kulaba enjawulo mu bbanga ttono. Tulina obukugu okubakumaakuma ate nga batukkiririzaamu. Tubasaba mugezese ekkubo lino kuba likola,” Luzindana bwe yategeezezza.

Yasabye abavubuka okunywerera ku Katonda mu buli kye bakola ensi esobole okubanguyira kuba bangi basomye naye bali mu bulamu obujjudde obwavu n’okukaaba, ate ng’abataasoma bangi bagaggawadde nga n’obulamu bubanguyira olw’okwesiga Katonda mu mirimu gyabwe.

Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ng’obubaka bwe bwamusomeddwa amyuka Cansala Faaza Joseph Sserugga yasabye abavubuka okweyambisa obuvubuka bwabwe bakole basobole okukulaakulanya famire zaabwe, Eklezia n’eggwanga.

Ssaabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba nga ye yabadde omugenyi omukulu yasabye abavubuka abakyasoma okunywerera ku misomo gyabwe baleme kululunkanira masanyu ga nsi ge yagambye nti galemesezza bangi okutuukiriza ebirooto byabwe.

Ssaabavubuka w’essaza, Simon Peter Mukasa yasabye Gavumenti okubakwatirako babeeko pulojekiti gye batandikawo okusobola okusitula embeera zaabwe mu by’enfuna.

Lumumba yawaddeyo 10,000,000/- okudduukirira emirimu gy’abavubuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...