TOP

Agambibwa okutta mukazi we akyaleppuka

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

OFIISA wa poliisi eyanoonyereza ku musango gwa Mohammed Kateregga agambibwa okugezaako okutta mukazi we e Mbuya ng’akozesa petulooli awadde ensonga lwaki baamuggulako ogw’okugezaako okutta omuntu.

Wata 703x422

Steven Wolimbwa okuva ku poliisi ya Jinja Road yategeezezza kkooti y’e Nakawamu ey’omulamuzi Agnes Alum ebikwata ku musango oguvunaanwa Kateregga eyagezaako okutta mukazi we Suzan Kawala.

Wolimbwa yagambye nti nga January 9, 2019 baamuleetera Kateregga nga bamuteebereza okwokya ennyumba ya Kawala esangibwa e Mbuya era ne bamuwa ebizibiti bye baamukwata nabyo okwali obucupa bubiri n’olugoye nga biwunya petulooli wamu n’emmotoka ye, ekika kya Nissan ng’eno baamutegeeza nti gye yalimu.

Yagenda mu maka ga Kawala e Mbuya n’asanga ng’ennyumba yayidde naddala mu ddiiro, lye yakozesanga nga saluuni, kyokka kyo ekisenge tekyajja.

Yeeyongerayo mu ddwaaliro e Kiruddu Kawala gye yali okumuggyako sitetimenti era yasanga ali mu bulumi.

Kawala yamutegeeza nga Kateregga bwe yali amwokedde mu nnyumba nga yeeyambisa akacupa era ng’amafuta gano yagayisa mu ndabirwamu y’eddirisa lye yali ayasizza eggulolimu nga muno mwe yayisa akabiriiti akaakoleeza ennyumba.

Kawala yamutegeeza nti yakuba enduulu era baliraana be baamutaasa n’atwalibwa mu e Kiruddu okufuna obujjanjabi.

Muserikale munne, Obadiah Ekinu yamutegeeza nti Kateregga emmotoka ya Nissani, ye yabategeeza nti yiye nga yasangibwamu akacupa ke baateebereza okubaamu amafuta era baamukwata ng’adusseeko mmita 100 okuva ku nnyumba gy’agambibwa okwokya.

Wolimbwa yakizuula nti Kateregga ne Kawala baali bafumbo kyokka mu kiseera ekyo baali baayawukana nga Kateregga yali yalekawo Kawala n’agenda mu maka amalala gye yalina omukazi omulala.

Wolimbwa yagambye nti ng’amaze okufuna obujulizi obwo yatwala fayiro eno ewa Godwin Agaba akulira okunoonyereza ku misango ku poliisi ya Jinja Road ng’ono ye yaggula ku Kateregga emisango gy’okugezaako okutta omuntu wamu n’okwokya ennyumba.

Wabula yategeezezza nti emmotoka ya Nissan gye baakwata ne Kateregga teriiwo ku poliisi ya Jinja Road nga baagiwa Mohammed Bukenya ng’ono ye taata wa Kateregga nga yabategeeza nti emmotoka eno teyali ya Kateregga wabula yali ya muganda we Sulaiman Kibalama eyagimukwasa okugira ng’agikuuma era yaleeta n’empapula ezikakasa obwannannyini buno.

Agambye nti okunoonyereza ku musango guno tekunnakomekkerezebwa kubanga bakyalinda lipooti okuva mu kitongole kya poliisi ekikebera ebimu ku bintu ebiraga nti oba Kateregga yakozesa petulooli okwokya ennyumba ya Kawala.

Omusango guno omulamuzi Alum agwongeddeyo okutuuka nga March 11,2019. Mu kiseera kino Kawala akyapooca n’ebiwundu mu ddwaaliro e Kiruddu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Team 220x290

Minisita alonze akakiiko akanaasalawo...

MINISITA w’ebyenjigiriza Janet Museveni alonze akakiiko ka bantu 17 okwekenneenya lipooti eyakolebwa akakiiko k’omugenzi...

Gomez 220x290

Selena Gomez alangiridde bw'agenda...

Selena yatambulira ku mukolo gwa Cannes ogwa kapeti emmyuufu nga Murray atongoza firimu ye empya emanyiddwa nga...

Hat2 220x290

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde...

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde poliisi olw'okutyobola ekitiibwa kyabwe

Bajulizi 220x290

Emikolo gy'okutegeka olunaku lw'Abajulizi...

BANNAYUGANDA abeegattira mu kibiina ekimanyiddwa nga Uganda Cryodon Catholic Community ekisangibwa ku njegoyego...

Jeje703422 220x290

Minisita JJ Odongo alumbye Poliisi...

MINISITA w’ensonga ez’omunda Gen. Jeje Odongo (wansi) atabukidde abakulu mu poliisi olw’enguzi esensedde ekitongole...