TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Philo Mwesigwa akulaze engeri gy'oyinza okweggya mu bwavu

Philo Mwesigwa akulaze engeri gy'oyinza okweggya mu bwavu

By Martin Ndijjo

Added 5th March 2019

Philo Mwesigwa akulaze engeri gy'oyinza okweggya mu bwavu

Fut1 703x422

Philo Mwesigwa ng'annyonnyola

PHILO Mwesigwa (Philip Mwesigwa Lutaaya) eyeegulidde erinnya mu kusomesa, okubuulira n’okuzzaamu abantu essuubi naddala abo ababeera beekyaye (Motivation & Inspiration Speaker) abuuliridde bakozi banne aba Bukedde famire ku mbeera abakozi mu bitongole eby’enjawulo gye bayitamu etuuse n’okubakyaya emirimu gyabwe.

Philo agamba nti abakozi abamu beesulubabba ku mirimu ne bakola ng’abatayagala mirimu gyabwe ne batamanya nti omulimu kintu kikulu nga ssinga gubeera guvuddewo bayinza okukaaba amaziga oba okwekyawa.

Yagambye nti embeera naddala ey’ebyenfuna eyeeyongedde okukaluba etuusiza abakozi abamu ku mirimu okwekyawa n’okuggwamu amaanyi nga kati bakozesa ebigambo omuli :Obusente bwe batuwa tebumala, nze n’ebintu bya wano byantama, tuli bakoowu, kkampuni eno si ya taata wo.

Bakozi banne aba Bukedde famire yabakubirizza obutaggwaamu ssuubi okutuuka ku mbeera y’okwetamwa emirimu gye bakola wabula baagale nnyo omulimu gwabwe n’okukola n’amaanyi okusinga okwejjusa nga bakugobye ku mulimu.

Yabakubirizza okubeera abatetenkanya nga batereka ku ssente ze bakola basobole okwezimba n’okugatta ku mirimu gye bakola oba okwetegekera obulamu obuyinza okuddako ng’ofi iriddwa omulimu gwo.

Yabagambye nti basobola okutereka ku ssente nga baziggya ku musaala gwe bafuna nga kino yagambye nti osobola okukikola buli lunaku, ku nkomerero y’omwezi oba ebbanga eggere.

Yabawadde eky’okulabirako nti ye mu emyaka 10 gy’amaze mu kkampuni yatandikawo enkola y’okutereka ekitono nnyo; 500/- buli lunaku nga zino aziteeka mu bidomola awaka.

Mwesigwa alagibwa ku Bukedde TV1 ku Lwokutaano ku ssaawa 10:30 ez’olweggulo ne ku Lwomukaaga 8:00 ez’emisana ne ku Ssande ssaawa 9:00, agamba nti obumu ku ‘bulwadde’ obusinga okuluma Bannayuganda kuggwaamu ssuubi era kino kye kimuleetedde okuvaayo okutandika okukola omulimu gw’okuzzaamu abantu essuubi n’amaanyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...