TOP

Emisinde gy'Amazaalibwa ga Kabaka gya April 7

By Dickson Kulumba

Added 7th March 2019

Mayiga yatongozza olukiiko olutegeka emisinde gino egy’okubeerawo nga April 7, 2019 mu Lubiri nga lukulemberwa Robert Kabushenga, akulira Vision Group era n’abawa ekkatala lyakufuna abaddusi 100,000.

Kabakarun1 703x422

Mayiga (owookubiri ku ddyo) ng'ali n'akulira Airtel, VG Somasekhar (amuddiridde ku kkono) nga balaga emijoozi egy'okuddukiramu emisinde gya Kabaka egyatongozeddwa. Ku ddyo ye minisita w'ebyemizannyo Ssekabembe ne Remmie Kisakye owa Airtel.

EMISINDE gy’amazaalibwa ga Kabaka aga 64 gitongozeddwa.  Katikkiro Charles Peter Mayiga y’agiwomyemu omutwe n’akunga Bannayuganda bonna okugyetabako  okudduukirira abalwadde ba sikoseero.

Omukolo gwabadde ku Bulange eMmengo ku Lwokusatu. Mayiga yategeezezza nti okukuza amazaalibwa ga Kabaka tekibeera kinyumu wabula okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Kabaka entabiro y’Obuwangwa bw’abantu ba Buganda.

Emisinde gino gya mulundi gwa mukaaga nga gitegekebwa ku miramwa egigenderera okutumbula obulamu bwa Bannayuganda abatawanyizibwa endwadde ez’enjawulo. Emyaka esatu egyasooka kaweefube yali ku kulwanyisa okutonnya mu bakyala ate okutuuka omwaka guno ekitundu ekiva mu misinde kigenda kuyamba abalwadde ba nnalubiri (sikoseero).

Minisita w’emizannyo, abavubuka n’okwewummuza e Mmengo, Henry Ssekabembe Kibweru yeebazizza abavujjirizi abakulemberwa Airtel, Bukedde efulumizibwa Vision Group, Postbank, Rwenzori nga bano ku mulundi guno bawaddeyo obukadde 111.5, MAAD Advertising nga bayanjudde obukadde 25,  Events Warehouse, BBS n’endala.

Mayiga yatongozza olukiiko olutegeka emisinde gino egy’okubeerawo nga April 7, 2019 mu Lubiri nga lukulemberwa Robert Kabushenga, akulira Vision Group era n’abawa ekkatala lyakufuna abaddusi 100,000.

Akulira Majestic Brands, ekwanaganya emisinde gino, Ronald Kawaddwa yategeezezza nti ku mulundi guno baagala okulaba nga bakubisaamu obukadde 200 ezaaweebwayo okujjanjaba abalwadde ba sikoseero.

Emijoozi gyakugula 10,000/- era ebikozesebwa byakusangibwa e Bulange - Mmengo,  ku maduuka ga Airtel, ku ofiisi za Bukedde wano mu kibangirizi kya bannamakolero mu Kampala n’ebirala ebinaalangirirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu